• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Minisita Kiyimba asabye abayizi okwegatta ku kulwanyisa Mukenenya

Gambuuze by Gambuuze
September 27, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Minisita Kiyimba asabye abayizi okwegatta ku kulwanyisa Mukenenya
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mityana – Ssingo

Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku nsonga z’Olukiiko, Kkabineeti era omwogezi w’ Obwakabaka Owek. Noah Kiyimba asabye abayizi okusitukiramu beegatte ku lutalo lw’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya.

Okwogera bino Minisita Kiyimba abadde Mityana ku ssomero lya MUMSA High School  mu mpaka ezitegekeddwa okubangula abayizi ku ngeri gyebasobola okwogerera mu bantu (Public Speaking) awatali kwetya.

Owek. Kiyimba agamba nti okunoonyereza okukyasembyeyo okukolebwa kulaze nti okusinga akawuka kano kali nnyo mu bavubuka nga bwekityo basaanye okwenyigiramu butereevu okukalwanyisa.

Ono abayizi era abakuutidde okukozesa obulungi ebiseera byebalina mu ssomero nga bafuna obukugu naddala obukwatagana nebyo byebasobola okweyambisa mu bulamu obwabulijjo era obudde beewale okubumalira mu bitabo byokka.

Owek. Kiyimba  yasabye abayizi obutagayalirira kitone ky’akwogera mubantu kubanga kyankizo mukusalawo ensonga era n’okugulira omuntu emikisa.

Ono yabeebazizza olw’okuvaayo nebawagira emirimu gy’Obwakabaka nga bagula Ssatifikeeti okusinziira mu nnyumba ez’enjawulo mwebegattira okuli;  Jjunju n’ ensimbi  2,012,500,  Kimera  n’essente 1,305,000, Kintu ne ssente 1,059,000 ate Bemba nesemba n’emitwalo 66.

Ye omutandisi w’essomero lino era minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza Obwakabaka olw’okubeera eky’okulabirako kuba kyekimu ku bintu ebyamuwaliriza okutandika essomero lino.

Owek. Kawuki agamba nti ensangi zino bantu abasinga tebamanyi kwogera mu bantu nga kigwanidde okubangula abayizi mu nteekateeka eno kuba bano bebakulembeze ab’enkya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist