Bya Stephen Kulubasi
Minisita w’amawulire, abagenyi n’ensonga za Kabineeti mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Noah. Kiyimbwa, asabye buli muntu mu Buganda afube okulaba nga’asimbayo omuti olunaku lw’enkya ng’Obuganda bujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’e 66.
Minisita agambye nti kino kikolebwe ng’akabonero ak’ekijjukizo ky’amazaalibwa ga Ssaabasajja era n’ayongerako nti, “Okusimba omuti tekijja kutuyamba kukuuma butonde kyokka wabula n’okubala emyaka egiyitawo okuva amazaalibwa ga Kabaka agajaguliziddwa mu kolona lwe gaaliwo nga tuli mu biseera ebirijja.”
Obubaka buno, Owek. Kiyimba, okubuwa abadde alambulula nteekateeka z’omukolo gw’amazaalibwa ga Ssemunywa agagenda okukuzibwa enkya mu Lubiri e Mmengo. Ono agambye nti enteekateeka zonna banaatera okuziggyako engalo ate ng’ezimu ng’okutuuka kw’ebirabo bya Kabaka zaatandise dda era ng’ekibulayo kya Maasomoogi kusiima bifuuke Amakula.
Minisita era asabye abantu okwongera okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya olukulembeddwamu Ssebuufubwango yennyini. Ono yasinzidde wano n’ategeeza nti wagenda kubaawo n’okutongoza akatabo akakwata ku Mukenenya olunaku lw’enkya wamu n’okufuna obubaka bw’abavubuka abakoseddwa nnawookera w’ekirwadde kino.
Okufaananako ebikujjuko by’Obwakabaka ebizze bikuzubwa okuva Ssennyiga kolona bwe yabalukawo mu nsi, n’amazaalibwa ga Beene gagenda kukuzibwa mu ngeri yakinnasayansi ng’abagenyi bayise batonotono, okwewala okusaasaanya ekirwadde kino. Ku lw’embeera eno, Minisita asabye buli muntu okwambala olugoye lwe olw’ekinnansi omukolo gw’enkya agugoberere ku Terefayina oba laadiyo.
Ssaabasajja yasiimye omukolo gw’enkya gutandike n’okusaba okugenda okukulemberwamu abeddiini y’Ekisiraamu era nga yasiimye n’okuwa abantu ab’enjawulo ejjinja ery’omuwendo olw’ebyo bye bakoledde Obuganda.