Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku mawulire n’ensonga za Kkabineeti, Owek. Noah Kiyimba, akubirizza abaami ba Beene okusembeza be bakulembera era bafeeyo okubategeeza ebifa Embuga.
“Tetuyinza kukola mirimu gino nga temusisinkana bantu kubabulira ebigenda mu maaso, mufeeyo okumanyisa abantu enteekateeka z’Obwakabaka basobole okuganyulwamu.” Owek. Kiyimba bw’abasabye. Okusaba kuno Minisita Kiyimba akukoledde mu bimuli bya Bulange leero ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu ggombolola ya Mituba III Bukomero ne Mumyuka- Busimbi okuva e Ssingo.
Minisita Kiyimba agamba nti amawulire ag’obulimba agatambuzibwa ku mutimbagano gava ku bakulembeze kulemwa kutuuza nkiiko ne bategeeza abantu b’Omutanda ebifa Embuga.
Ono asinzidde wano n’ayambalira ababungeesa eng’ambo nti bo ng’abakulu babamanyi era tebajja kubakkiriza kulimba bantu ba Kabaka era n’asaba abantu ba Buganda okugoberera emikutu emitongole egy’Obwakabaka bwe baba baagala okumanya ekituufu.
“Tubamanyi era tetujja kubaganya kugenda mu maaso nga mulimba abantu. Ejjoogo lirina okukoma.” Owek. Kiyimba bw’akkaatirizza
Ssaabawaali wa Mituba III Bukomero, Kabonge Dan ategeezezza Minisita nga bwe baasobola okununula embuga y’essaza okuva mu gavumenti eyaawakati wabula bakyalemeddwa okununula ettaka lya Nnyinimu lyonna, ekizing’amizza emirimu.
Kabonge yeeyamye okukola kyonna ekisoboka okukulaakulanya abantu ba Kabaka mu kitundu kino era ne yeebaza Minisita olw’okubaaniriza. Eggombolola zombi zireese Oluwalo lw’ensimbi ezisoba mu bukadde 8, okusobola okutuusa empeereza ku bantu ba Kabaka.