Bya Francis Ndugwa
Mmengo
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku mawulire era omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Noah Kiyimba, atabukidde abantu naddala abakozesa emitimbagano abeefunyiridde okutambuza eng’ambo ku bulamu bwa Beene nga beefuula abalumirirwa Obwakabaka.
Owek. Kiyimba bino abyogeredde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde atikkula Amakula ga Beene okuva mu bannakyaggwe olunaku lwa leero ku Lwokubiri.
“Lwaki tugendera ku bigambo by’abo ne tweraliikirira ne tulemwa okukola olw’ensonga ezitaaliwo. Ssaabasajja Kabaka alina emikutu emitongole. Abantu ba Kabaka tubeere bagumu era tubeere banywevu, abantu abo mubaatulire bakimanye nti tukooye kasasiro. Owek. Kiyimba bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti okulabika kwa Beene si kwa jjenjeero era mu buwangwa abaganda balina kulinda okutuusa lw’alisiima so si bannakigwanyizi kuteekawo mbeera emubanja.
“Ndabula naddala abavubuka nti bwe bakutenda okudduka ate toyita wammwe. Muleme kuwalampa mweramannyo. Ababibaweereza mu bibaddize bajja kukomya okubisaasaanya,” Minisita Kiyimba bw’annyonnyodde.
Ono akangudde ku ddoboozi n’agamba nti Buganda yeetaaga okukola ennyo okudda ku ntikko era ku kino okukikola balina okukomya okwekubagiza n’abakunga buli omu okufaayo okutuusa olubimbi lwe, basobole okwegobako obwavu era bakulaakulane.
Owek. Kiyimba bano abasabye okuddayo ku nkola ey’edda kuba buli muganda yabanga n’ennimiro ya Kabaka eyabayabanga okwekulaakulanya.
Ku nsonga y’obutonde bw’ensi, Minisita Kiyimba asabye gavumenti okubaga amateeka amakakali agakugira abantu okutema emiti okutaasa obutonde bw’ensi.
Mu ngeri ey’enjawulo n’ekitongole ekikola Ku kunoonyereza ku nnima oy’omulembe mu ggwanga ekya National agriculture Research organization(NARO) nga kiriko endokwa z’emiti ze kiwaddeyo eri abeggombolola eno ng’emu ku ngeri y’okuzzaawo obutondebwensi.
Akulembeddemu eggombolola eya Mituba V, Louis Buyondo Matovu, aloopedde minisita Kiyimba obuzibu bwe bayitamu mu buweereza ng’obutafuna kubangulwa kumala ku nnima ey’omulembe n’ebirala ebitambuza enkulaakulana akasoobo.
Omuk Ssoko Rameka nga y’akiikiridde Katikkiro w’ebyalo, ategeezezza nga woofiisi eno bw’ekoze omukago n’ekitongole kya NARO okusobola okuzzaawo obutonde bw’ensi ng’enkola, eno egenda kubunyisibwa buli ggombolola ya Beene.
Omukungu wa NARO, Gladys Namagembe, asabye abantu abaweereddwa emiti gino okugikuuma obulungi ng’akabonero k’okudduukirira ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka ogw’okukuuma obutonde bw’ensi.