Musasi waffe
Minisita wa Kabaka avunanyizibwa ku Lukiiko, Kabineeti, Amawulire, Abagenyi era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Noah Kiyimba agambye nti tekisoboka kuzza Buganda kuntikko ng’abantu balwadde. N’olwekyo, nsaba abavubuka okwekuuma obulwadde bwa mukenenya, nga banukula omulanga gwa Ssabasajja Kabaka.
“Kabaka atukulembeddemu okulwanyisa mukennenya n’olwekyo mmwe abavubuka mwongere okutegeeza bavubuka banammwe nti obulwadde gyebuli. Bafube okwekuuma,” Kiyimba bweyategeezezza. Okwogera bino Oweek. Kiyimba yabadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kutikkula oluwalo ku Mbuga enkulu e Bulange Mmengo. “Ebiseera ebisinga abavubuka ogenda n’obagamba nebalabikanga abawulidde, naye ate yennyini awulidde ate yagwa muntata. Obulwadde bwa mukenenya tebukwata miti wabula bantu; ng’anaamakubo mwebuyita tugamanyi. N’olwekyo tubeere begendereza nnyo. Kikwasa ennyiike omwana asomye okuva mu bulamu bwensi olw’obulwadde bwa mukenenya,” Kiyimba bweyagambye. Yanyonyodde nti okusinziira ku kononyereza, obulwadde buno businga mu Buganda, n’olwekyo nsaba abavubuka obutabako muntu yenna gwebeesiga okugyako nga amaze kukeberebwa. Kyokka era yasabye abavubuka bafune ababeezi okusinga okuwankawanka n’abuli muntu.
Kuludda olula, Ssalongo Lawrence Kayiza Mbuubi, ng’ono ye mwami atwala essaza lya Kabaka erye Buvuma omulonde nga naye yakiise Embuga yayanjulidde Katikkiro ebizibu ebiri mu Ssaza lye, newankubadde yayongeddeko nti bajja kubirwanyisa okulaba ng’essaza lyabwe lituuka kuntikko. “Tuli bavubi naye waliyo amagye agajja okulwanyisa envuba embi naye abajaasi abo ate biyitirizza okutulugunya abantu. Abamu bafuuse balema, abamu bafudde. Oluusi webakusanga ng’olina ebyennyanja byo ttani nga ttaano, naye nga mulimu akenyanja kamu akato, byonna babitwala,” Kayiza bweyagambye. Abe Buvuma batikuddwa Oluwalo lwa 1,840000. Mu balala abakiise, mwabaddemu abe Ssaza lye Kyaddondo nga bakulembeddwamu Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa.
Wammanga amasomero bwegaatikuddwa.
Homsdallen primary School 1,000,000
Ridgeway Primary School 1,000,000
Victorious Primary School 500,000
Old Kampala Primary School 200,000
Covenant Primary School 380,000
Kampala High School 250,000
Namirembe Model School 100,000
Lohana School 100,000
Kyaggwe Road Primary 20,000
Bright Junior School 200,000
Omugatte 5,620,000