Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke buzzeemu okulabula abantu abawalampa Nnamulondo nebavvoola Kabaka wamu ne baminisita be nti bakusimbibwa mu mbuga babitebye.
Okulabula kuno Owek. Kazibwe akukoze ku Mmande bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kukwatibwa kw’Omubuvuka Musana Ibrahim eyeeyita Pressure Pressure abadde avvoola Nnyinimu n’abakulembeze abalala.
“Tutwala omukisa guno okutegeeza abantu ba Ssaabasajja Kabaka mwenna nti okukwatibwa kwa Musana Ibrahim gaali maanyi ga Bwakabaka n’okufaayo kwa b’ebyokwerinda. Omuntu anaddamu okwepampalika ku Nnamulondo ajja kukolebwako mu Mbuga z’amateeka,” Owek. Kazibwe bw’agasseeko.
Minisita Kitooke annyonnyodde nti omukono gw’amateeka tegugenda kukoma ku bavvoola Nnamulondo bokka naye naabo abawaaba emisango egitalimu nsa basobole okuliyirira Obwakabaka.
Ono era agumizza abantu ba Buganda okusigala nga bali bumu mu kaseera kano akalimu okuluma obujiji kubanga obumu gemaanyi kubanga abamu ku bavubuka abali emabega w’ebikolwa bino bavugirirwa abalabe ba Buganda.
Owek. Kazibwe era yennyamidde olw’empisa eziserebye ennyo mu maka nga kino kivuddemu okufuna abavubuka abakuziddwa obubi nebatuuka n’okuwalampa Obwakabaka naasaba abazadde okufaayo ku nkuza y’abaana babwe.