Bya Ronald Mukasa
Kawaala – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire n’ Okukunga Abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek Israel kazibwe Kitooke akubiriza abantu be kawaala okufaayo ku nkuza y’ abaana okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Owek Kazibwe bino abyogeredde Kawaala mu Kyaddondo bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okusiiga omutongole n’omumyuka we ku kyalo kino ku Lwokusatu.
Minisita Kazibwe agamba nti enkuza y’abaana etegeeza kinene nnyo ku biseera byabwe eby’enkya bwatyo naasaba abazadde okulaba nti abaana bakulira mu mpisa, obuwangwa n’obuntubulamu.
Abaami b’Omutanda abakuutidde okuweerereza mu bwerufu bagguse olutabaalo olw’okuzza Buganda ku ntikko.
Atwala eby’Obulamu mu Ggombolola ya Mukulu w’Ekibuga Lubaga, Robert Mundu yeebazizza Beene olw’okukwasizaako abantu ku nsonga z’ebyobulamu okusinga abakyala abaalina endwadde y’okutonnya nakakasa nti kati bano embeera yabwe yakyuukira ddala.
Wano Omutongole w’ekitundu kya Kawaala I mu muluka Ssabawaali Kasubi, Ddumba Ismail n’omumyuka we Musisi Nakyagaba Rehema bakuutidwa obutateeka mikono gyabwe ku biwandiiko ebitali birambulukufu okwewala okukola ensobi ekiyinza okuviirako okuswaza Nnyinimu.