Bya Noah Kintu
Ssembabule
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Joseph Kawuki, alaze obwennyamivu olw’obubenje obufuuse baana baliwo ensangi zino nga bantu bangi batokomokedde mu mbeera eno.
Owek. Kawuki bino yabyogeredde mu kuziika Deo Kwesasira ku kyalo Bituntu mu ggombolola y’e Mateete mu disitulikiti y’e Ssembabule, awali abantu abaafiiridde mu kabenje akaagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara, okukkakkana ng’abantu 14 entamu ezaabwe zivuunikiddwa.
Minisita Kawuki yasabye gavumenti eteekewo enkola ennambulukufu erina okugoberera mu kutaasa abantu ababeera bafunye obubenje ku luguudo lw’e Masaka, n’enguudo endala zimwasanjala.
“Twalaba abaserikale mu kiseera kya Covid- 19 naddala nga yaakatandika nga bakuba n’abantu emiggo, naye lwaki abaserikale b’oku nguudo balemeddwa okuziyiza obubenje? Gye buvuddeko obubenje ku luguudo luno bwali bukendedde naye kati bwazzeemu.” Bw’atyo Minisita Kawuki bwe yagambye.
Ate Faaza Mbuga Dennis nga ye yakuliddemu ekitambiro kya mmisa ekyasiibudde omugenzi, yasabye abantu okubeera abeetegefu okudda eri Omukama kuba akadde konna omuntu ayabulira obulamu bw’ensi nga bwe kyabadde ku mugenzi ne banne.
Ye ssentebe wa disitulikiti eno omulonde, Patrick Nkalubo, yalaze Minisita Kawuki bw’ali omwetegefu okukolagana n’Obwakabaka okutuusa empeereza ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka.