
Bya Musasi Waffe
Ssemuto – Bulemeezi
Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka,Owek. Joseph Kawuki avumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu omuli okuwamba abantu, okubatulugunya awamu n’ekibbattaka ebiri mu ggwanga.
Okwogera bino, Owek. Kawuki abade Ssemuto mu Bulemeezi bw’abadde yeetabye mu kuziika Ssaalongo Joachim Kiggundu ku Lwokuna ng’ono yabadde atunda Satifikeeti n’ebintu bya Buganda mukitundu kino.
Owek. Kawuki annyonnyodde nti Buganda kyeyinza okukola mukiseera kino kwekwogera n’okuvumirira ebikolwa bino kuba tebalina buyinza busukka kwekyo. Ono alaze nti engeri yokka Buganda gyesobola okubaako kyekola y’enfuga eya Federo singa ebeera ebaweereddwa.
Ono asabye gavumenti okulongoosa ebeera eyo, n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo eri abantu.

Minisita Kawuki asabye buli omu okukola kyasobola okuzza Buganda ku ntikko era bakomye okulinda abakungu okuva e Mmengo kubanga buno buvunaanyizibwa bwa buli muntu.
Ono abazadde abawadde entanda okulung’amya obulungi abaana kuba Buganda ey’enkya kweyimiridde.
Omukolo guno ogw’okuziika gutandise n’ ekitambiro ky’emmisa ekikulembeddwamu Bwanamukulu w’Ekigo kya Kijaguzo Fr. Achilles Ssemakula Kiwanuka, asabye abazadde okukuza abaana nga balimu ensa.
Ye omubaka w’ekitundu kino mu Palamenti, Luttamaguzi Ssemakula akubirizza abantu okukola ennyo okulwanyisa obwavu era basoosowaze enkola ya Bulungibwansi okutumbula embeera zabwe era babanje gavumenti esobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwerina eri bannansi.









