Bya Mugwaanya George William ne Pauline Nanyonjo
Ssingo
Minisita w’Obwabaka avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye abakulembeze ba Nnyinimu mu Ssingo okufaayo banyweze obukulembeze olwo emirimu gisobole okutambula obulungi.
Obubaka buno Owek. Kawuki abuwadde abangula abakulembeze abeetabye mu lusirika lw’abakulembeze mu ssaza olwategekeddwa ku ssomero lya Hand in hand Primary school mu ggombolola ya Musaale Bulera.
Owek. Kawuki yabasabye okukola emirimu egibasuubirwamu kubanga bebatuukira ddala wansi ku bantu ba Kabaka, kyokka nga kino baakukisobola singa banagoberera ennambika etambuzibwako emirimu mu minisitule ne mu Bwakabaka.
Minisita Kawuki yabategeezezza nti mu kulwana okuzza Buganda ku ntikko amasaza, eggombolola, emiruka n’ebyalo bya Kabaka byonna biteekeddwa okusooka okudda ku ntikko ate n’enkola y’emirimu ng’ entambulira munkola ey’omulembe omugya.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Ssingo, Mukwenda Deo Kagimu mukusomesa abakiise yategezeza nti ekitiibwa ky’Obwakabaka okulabikira mu mbuga zamagombola n’ebizimbe by’Obwakabaka so nAakubiriza abatalina mbuga okufuba okuzizimba wamu n’okuddabiriza ezo eziri mu mbera etasanyu.
Mukwenda Kagimu yabajukiza eddimu essaza Ssingo lyeyabakana nalyo ery’okufuba okuzimba bugwe ku mbuga ye Ssaza eryatumibwa bulula Matutuma naabasaba okwongera okulaga abantu obulungi bw’ enteekateeka eno..
Abeetabye mu lusirika luno beeyamye okuteeka mu nkola ebyo ebiyigiddwa era nebawera okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka nokuzaagazisa abantu wansi mu byalo.
Olusirika luno lutambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okunyweza Obululembeze mu Ssaza Ssingo” nga lwakumala ennaku nnya nnamba, luno lwetabiddwamu; Abaami b’eggombolola ezikola Essaza Ssingo n’Abamyuka baabwe, abakulira ebitongole by’Essaza n’abaseesa nga batudde ku ssomero lya Hand in hand Primary school erisangibwa mu gombola Musaale Bulera.