Bya Ronald Mukasa
Bukulula-Buddu
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki alabudde abantu ba Kabaka ku balabe ba Buganda abeesomye oginafuya naabasaba okunywerera ku Nnamulondo basobole okubawangula.
Obubaka buno Minisita Kawuki abuweeredde Bukulula mu Buddu bw’abadde alambula emirimu egikolebwa gavumenti ya Beene mu Ggombolola ya Mutuba II Bukulula ku Lwokusatu nga awerekeddwako Pookino Jude Muleke.
Owek Kawuki Banna Buddu abagumiza ku basseketerera obwakabaka nakinogaanya nti buli Ssaabasajja kyasimbako essira kigguka bwatyo nabasaba okunywera baleme kuseesetuka mumbeera zonna.
Ono abasibiridde entanda ey’okwetegeerera baleme kuwuliriza maloboozi gabajja ku mulamwa era banywerere kwebyo ebiva embuga.
Mu ngeri yeemu abeebazizza omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ye Ggombolola, era naabasaba okuggusa omulimu guno ate bakole ebiri ku mutindo.
Minisita Kawuki era abeebazizza ku kaweefube w’okununula ettaka ly’Obwakabaka, nokussaawo enkolagana ennungi wakati w’Obwakabaka ne Gavumenti ya wakati.
Banna Buddu minisita abasabye okwongera amaanyi mukuwagira enteekateeka z’obwakabaka ng’emisinde gy’amazalibwa ga Nnyinimu, oluwalo nebirala era nalabula okwerinda Nnawookeera wa sirimu akyegirisiza mukitundu kyabwe.
Owek Joseph Kawuki alambuludde nti ekigendererwa kwe kwetegereza emirimo egikolebwa, okunyweza obumu mu bukulembeze n’abantu ba Kabaka, okulambika Abaami ab’emitendera gyonna n’enkiiko enkulembeze ku mitendera gyonna.
Omumyuka w’omwaami we Ggombolola ya Mutuba II Bukulula Nsubuga Patrick, aweze okwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa Nnyinimu basobole okutumbula embeera z’abantu n’okuzza Buganda ku ntikko.