
Bya Ssemakula John
Busia
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki, alabudde abantu abavvoola Nnamulondo okukikomya kubanga bagenda kwaŋŋangibwa mu ngeri yonna esoboka.
Okwogera bino abadde atuuza Omubaka wa Kabaka mu ssaza Busia, Tororo ne Malaba, Owek. Joseph Ssenkumba n’omumyuuka we Ronald Kizito kwossa okulayiza abakulembeze b’Obwakabaka mu Ssaza lino ku wiikendi.

Owek. Kawuki annyonnyodde nti ebikolwa ebityoboola Nnamulondo birina okukomezebwa mu bwangu era nababikola bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka.
Minisita Kawuki era ajjukizza abantu ba Kabaka ebweru wa Buganda okubeera omumuli gwa Kabaka n’okwenyumiriza mu kyebali era bafube okwagazisa Obwakabaka abantu be bawangaaliramu.
Ye Omumyuuka wa Katikkiro asooka mu bukulembeze bw’ennono obwa Bugwe, Obwen’engo, Owekitiisa Arafat Egesa Barasa agambye nti baakutambulira wamu n’abakulembeze b’obwakabaka n’okwongera okunyweza enkolagana egendereddwamu okussaawo enkulaakulana eyannamaddala.
Omubaka wa Kabaka mu Ssaza Busia, Tororo ne Malaba, Owek. Joseph Ssenkumba bwabadde atuuzibwa, asabye abakozi ba Gavumenti abakuliridde mu myaka bave mu bifo byebalimu babirekere abavubuka abalina obukugu ssaako n’embavu okukola emirimu.









