Bya Jesse Lwanga
Mukono
Minisita omubeezi owa bakadde n’abaliko obulemu, Hajjati Sarah Kanyike, atabukidde abakulembeze mu bibuga ne Disitulikiti ez’enjawulo abalemeddwa okuyamba abantu abaliko obulemu.

Minisita Kanyike ategeezezza nti wadde ng’abakulira ebitundu bino bakimanyi nti waliwo ssente gavumenti z’ewa ebibiina by’abaliko obulemu bagaana okuweereza amannya g’ebibiina ebiri mu bitundu byabwe.
Bino Kanyike abyogedde alambula emirimu egikolebwa abaliko obulemu abeegattira mu bibiina eby’enjawulo gavumenti by’essaamu ssente.
Ensisinkano esookedde ku kitebe kya Disitulikiti era nga yeetabiddwako abakulira abaliko obulemu n’abakungu ba Disitulikiti.
Ono agambye nti kino okusinga kiri mu Kampala n’ekibuga ky’ Entebbe wabula n’asuubiza okukwatagana n’abakulembera ekibuga Kampala okulaba bwe bayinza okubayambamu.
Bwabadde alambula ggombolola ya Mukono Central Division, Goma, Nama ne Nakisunga Kanyike aggumiza ebibiina ebitannafuna ssente zino nti zigenda kubatuukako.
Ate ye Kamisona w’ensonga z’abaliko obulemu n’abakadde, Emily Ajambo agambye nti basalawo buli Disitulikiti eweeyo ebibiina kkumi (10) wabula nga ku zino 35 zokka ze zawaayo ebibiina bino, ono agasseeko nti bino babisuubira okweyongerako omwaka guno we gunaggweerako.
Ssentebe w’abaliko obulemu mu Mukono, Godfrey Nkunda, annyonnyodde nti bateekayo ebibiina 49 naye ku bino 12 byokka bye bakkiriza wabula nga ne bino tebiweebwanga ssente.
Nkunda asabye ssente ezibaweebwa zongerweko kuba abaliko obulimu tebalina mikisa kufuna mikisa ng’abalala.
Ebibiina ebyafuna ku ssente zino kuliko aba Namawojjolo Disability Group, abalunda enkoko era nga balaze Minisita nga bwebasomoozebwa ebbeeyi y’ebintu eri waggulu awamu n’okubulwa abakugu abayinza okubasomesa.
Kkansala w’abavubuka e Nama, Richard Ssemanda ategezeza abavubuka asabye abavubuka abaliko obulemu era okweyambisa ssente eziweebwa abavubuka basobole okweggya mu bwavu.
Mukono yafuna ensimbi ezisoba mu bukadde 65 nga zaakugabirwa ebibiina 12 mu Disitulikiti yonna.