
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku bulimi n’obweggasi mu Bwakabaka, Owek. Amis Kakomo asabye abazadde okukozesa oluwummula luno balambike abaana babwe mu mpisa bafune ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Owek. Kakomo bino abyogedde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri okutikkula oluwalo lwa bukadde 39 okuva mu Bannakyaddondwa ne Kyaggwe omuli n’Abaana b’amasomero .
“Nsanyuse okulaba abakulu b’amasomero abakoze enteekateeka okulaba ng’abaana nabo bakiika Embuga mu nkola eya luwalo lwaffe, twagala abaana bano bayige ebintu nga bukyali, bamanye ennono, n’obuwangwa byaffe era mubibaagazise bulijjo” Owek. Kakomo.
Minisita Kakomo asabye abazadde okuteekateeka obulungi abaana nga bukyali kubanga be bajja okutambulirako ebiseera by’Eggwanga eby’omumaaso.
Yeebaziza Abakulu b’amasomero abagunjula abaana Ekiseera ekinene kye bamala mu Ssomero, n’akuutira abazadde nabo batuukirize ekkatala lyabwe ng’abaana bazzeeyo ewaka mu luwummula.
Owek. Kakomo akubirizza abantu ba Buganda obutassa mukono ku nsonga y’okulima emmwanyi ng’agamba nti k’ebeere mbeera ki, emmwanyi teziggya kubulwa katale kasita zirimibwa era ne zirabirirwa bulungi.
Ye Minisita Noah Kiyimba akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Joseph Kawuki, akubirizza Abaami okwongera okugoberera okulambika okuva mu Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda basobole okutambuza emirimu obulungi era mu bwerufu, olwo batuuse obuweereza ku bantu ba Kabaka bonna.

Owek. Kiyimba annyonnyodde nti ensonga z’Obwakabaka zikwata ku buli muntu neyeebaza abaleese Oluwalo okuwagira emirimu gya Beene.
Abazadde abalabudde abazadde ku kutiitiibya abaana nga bakiyita okubalaga omukwano naabasaba okubayigiriza emirimu era babalambike ku nkozesa y’omutimbagano entuufu.
Omumyuka Asooka owa Kaggo, Omw. Bakulumpagi Ronald ng’omugabe w’abakiise Embuga ategeezezza nti okukiika Embuga, kabonero akalaga nti ddala Buganda esobolera ddala okwekolera ku nsonga zaayo singa eweebwa Federo, era nti enkola ya luwalo lwaffe ennyikiza ensonga ya Federo ey’ebikolwa, bwatyo yebazizza abantu ba Buganda olw’okujjumbira oluwalo era abasabye obutassa mukono wabula bongeremu amaanyi.
Eggombolola ezikiise Embuga kuliko Mutuba IV Masekkati, Ssaabagabo Lufuka, ne Ssaabawaali Gombe mu Kyaddondo wamu ne Mut. III Kyampisi mu Kyaggwe .









