![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/09/Mmaaa-300x167.png)
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika, asabye abantu bakabaka okujjumbira enteekateeka ya Ssaabasajja Kabaka ey’okugaba omusaayi basobole okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga okuli abakyala abazaala, abagudde ku bubenje n’abantu abalina endwadde enzibu nga Nnalubiri.
Owek. Bwanika yasinzidde Wakiso bwe yabadde atongoza enteekateeka y’okukung’aanya omusaayi mu ssaza Busiro ku ddwaliro lya St John’s Hospital e Wakiso.
Owek. Bwanika bano yabalaze obukulu bw’omusaayi mu mubiri gw’omuntu n’asaba abantu ba Kabaka naddala bannabusiro okujjumbira enteekateeka eno.
“Obwetaavu bw’omusaayi bugabirira amalwaliro nga 419 mu Uganda. Noolwekyo kitegeeza nti twetaaga okukung’aanya yuniti z’omusaayi nga 1500 buli lunaku nga kino tulina kikola nga tukubiriza abantu okuguwaayo.” Owek. Bwanika bwe yagambye.
ono era yasiimye Omuteregga olw’okwolesebwa kuno era n’asaba amasaza ag’enjawulo okujjumbira enteekateeka eno.