Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebibamba n’ebigwa tebiraze awamu n’abanoonyi b’obubudamo, Hillary Onek atiisizatiisizza nga bw’ayinza okulekulira olw’engeri Ssaabaminisita Robinah Nabbanja gy’akolamu emirimu.
Mu bbaluwa gye twasobodde okufunako kkopi nga yawandiikiddwa nga 29, October 2021, Minisita Onek agamba nti atandise okulowooza ku ky’okulekulira omulimu gwe kuba Ssaabaminisita Nabbanja atutte obuvunaanyizibwa bwe bwonna.
Onek annyonnyodde nti awulira enyiike okulaba Nabbanja ng’akola emirimu egyandibadde egigye.
“Okuva lwe walondebwa ku bwa Ssaabaminisita, nkwekennenyezza naye amazima gali nti woofiisi yo yatutte obuvunaanyizibwa bwange nga Minisita w’ebigwa tebiraze awamu n’abamyuka bange.” Onek bwe yategeezezza ng’ayita mu bbaluwa.
Onek annyonnyodde nti okuva Nabbanja lwe yalondebwa abadde ayita enkung’aana awamu n’okugenda mu bifo awali abakoseddwa nga tategeezezza woofiisi ye wadde abamyuka be.
Ono annyonnyola nti ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nga ate abakozi abali wansi wa Minisita bakiika butereevu mu nkiiko zino ate nga si baminisita.
Onek agamba nti ne woofiisi yeddizza woofiisi egabira abantu ebintu era ng’abakozi mu woofiisi eno kati ebintu bamala gabigaba awatali kugoberera mitendera awatali kunoonyereza na kwekenneenya.
Ono alumiriza Ssaabaminisita okuyimiriza okusenza abanoonyi b’obubudamu ekya Kyangwali olw’enkaayana awatali kumwebuuzaako nga Minisita akwatibwako.
Kinajjukirwa nti obutakkaanya bwa bano bwava ku Ssaabaminisita Nabbanja okukyusa obuwumbi 5 ku obwo 15 obwalina okuweebwa Minisitule y’ebigwa tebiraze ku ntandikwa y’omwaka guno.
Ensonga eno yalanda n’etuuka ne mu Palamenti okunoonyerezebwako.
Wano ababaka abatuula ku kakiiko k’embalirira baabuuza Ssaabaminisita Nabbanja ensonga lwaki Ssente zino yazikyusa nga ate zaali za Minisitule ya Onek, n’agamba nti waliwo emirimu gye yalina okukola ku bantu abakosebwa nga gyetaaga ssente.
Onek yategeezezza nti akoze ne ba Ssaabaminisita abawera basatu naye embeera eno ebadde tebeerawo kuba babadde bamanyi obuvunaanyizibwa bwabwe obubaweebwa Ssemateeka.
Nabbanja amwanukudde
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire wabweru wa Palamenti, Ssaabaminisita Nabbanja agambye nti ebbaluwa eno tannagifuna mu woofiisi ye wabula naye agirabye ku mitimbagano.
Nabbanja annyonnyodde nti yayogererawo nga yaakalayira nti tagenda kukkiriza nkola ya mirimu eya Ssemugayaavu nga ne bino Minisita Onek byakoze tebigenda kumutiisatiisa kuva ku mulamwa kuba ye aliwo kukolera bantu era n’enkola y’emirimu yakyuseemu.