
Bya Miiro Shafik
Kyaddondo
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo alambudde abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo mu Ssaza Kyaddondo ng’enteekateeka egendereddwamu okukumaakuma abavubuka okulaba nga bali bumu n’okulondoola embeera abavubuka ba Buganda mwe bawangaalira.
Minisita waakulambula Eggombolola zonna 11 ezikola essaza Kyaddondo era yatandikidde mu ggombolola ya Mut IV Kampala Masekkati, oluvannyuma n’ayolekera Mukulu wa Kibuga Mengo, Mut. III Makindye, Mutuba II Nabweru, Mutuba V Kawempe, Mutuba I Nangabo ne Ssaabawaali Gombe, era ng’enteekateeka ekyagenda mu maaso.
Serwanga alambudde abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo omuli abakola ssabbuuni, essigiri, langi, ebibajje, ebisiige, okubumba, okulunda embwa, abatereka n’okuwola ensimbi SACCO, abateeka obulambe ku ngoye n’abalala. Bano bamuloopedde ebisoomooza eby’enjawulo bye basanga, omuli ebbula ly’obutale, obuseere bw’ebikozesebwa, emisolo emingi n’ebirala. Mu ngeri y’emu beebazizza nnyo Kabaka ne Gavumenti olw’okusalawo okubalambula kye bagambye nti kibazzaamu amaanyi okugenda mu maaso.

Serwanga agamba nti musanyufu nnyo olw’olugendo lw’okulambula abavubuka kubanga abasanze bavumu nga beewayo okukola awatali kwekubagiza olw’ebisoomoza. Bano abasabye okubeera abagumiikiriza, abayiiya ate n’okugatta omutindo ku byebakola nga bafuna empapula ezikakasa obumanyi baabwe mu mirimu gyebakola era agamba nti ettendekero lya Buganda Royal Institute enteekateeka eno gyeri.
Minisita era asabye abavubuka bonna mu Buganda okwewala okumala gasaasanya ensimbi ze bafuna mu mirimu gye bakola kazibe ntono zitya, wabula beekolemu ebibiina by’Obweggasi mwe baterekera awamu kibayambeko okwekulaakulanya. Wano era avvumiridde eky’abavubuka abamalira ensimbi mu kunnywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala ky’agambye nti kibazza mabega.
Serwanga ategeezeza nti enteekateeka eno yakukolebwa mu Masaza ga Buganda gonna era nga Kyaddondo ly’Essaza ery’omukaaga erirambuddwa. Wano era waasabidde Abavubuka bonna mu Buganda abakola emirimu egy’enjawulo okwetaba mu mwoleso ogutegekeddwa nga 27/Kasambula omwaka guno, mwebagenda okuweebwa omukisa okulaga Ensi bye bakola, okubifunira akatale, ate n’okusaka amagezi ku bantu abalala, okusobola okugatta omutindo ku bye bakola.

Abaami ab’Eggombolola n’Abemiruka egy’enjawulo mu Ssaza Kyaddondo, Abakiise b’Abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda n’olukiiko lwe, abakulembeze b’Abavubuka mu Ssaza Kyaddondo be bamu ku baatambudde ne Minisita mu nteekateeka eno ey’okutalaaga Essaza Kyaddondo.









