
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, asabye ebitongole by’ebyokwerinda mu ggwanga okunyweza ebiragiro ebitangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Okusaba kuno, Minisita Aceng akukoze ayogerako eri bannamawulire ku Lwokubiri wano mu Kampala.
“Okukwasisa ebiragiro kulina okugobererwa obukiiko bwa disitulikiti obulwanyisa COVID-19. Bannansi basabiddwa okwambala obukookolo akadde konna nga bali mu lukale, bafube okulaba nga waliwo ebifo we banaabira engalo.” Aceng bw’annyonnyodde.
Dr. Aceng ayagala ab’ebyokwerinda bakwatagane n’obukiiko obwateekebwawo okulwanyisa Ssennyiga Corona ku disitulikiti ez’enjawulo balabe ng’abantu bagobererera ebiragiro okuli okwambala masiki, okunaaba mu ngalo awamu n’okwewala okukung’aana.
Ono agamba nti eno y’engeri yokka, bannansi gye basobola okulwanyisaamu ekirwadde kino ne bava ku muggalo.
Minisita Aceng asabye bannabyabufuzi bakomye okukung’aanya abantu nga babagabira emmere kuba wadde emmere bagyetaaga naye ate kisobola okuvaako okusaasaana kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Aceng era ategeezezza nti gavumenti yalagidde ebitebe byayo mu mawanga g’ebweru okutandika okunoonya eddagala erisobola okugema ekirwadde kino, kiyambeko okwanguya kaweefube gavumenti gw’eriko ow’okulaba nga bannansi bagemebwa.
Mu ngeri yeemu, Aceng ayambalidde abantu abaasudde ssanduuke y’abafu nga beemulugunya ku muteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine, gwe bagamba nti akutte bubi ssente z’okulwanyisa ekirwadde kino ne zitakola kyaziweesaayo.
Bano Aceng abasabye nti bwe baba baagala mbalirira n’ensaasaanya ya ssente ze baaweebwa, bagisabe mu kifo ky’okusuula ssanduuke z’abafu n’okusaba Atwine alekulire, kuba ebikolwa byabwe tebirina gwe bigenda kutiisatiisa.
Bino we bijjidde ng’eggwanga lirindirira okwogera kwa Pulezidenti Museveni ku Lwomukaaga okulaba oba eggwanga linaggulwawo oluvannyuma lw’omuggalo ogw’ennaku 42 ogwalangirirwa gye buvuddeko.









