Bya Musasi Waffe
Kampala
MINISITULE y’ebyobulamu esabye bannabyabufuzi okussa ekitibwa ku biragiro ebyateekebwawo nga okwambala obukookolo (Mask) n’okweyambisa eddagala eritta akawuka (Sanitizers) wamu n’okwewa amabanga wadde nga akalulu ka 2021 katuuse.
Okulabula kuno kwakoleddwa minisita Dr. Jane Ruth Aceng, oluvanyuma lw’okuzuula omuntu omulala ku beesimbyewo nga alina ekirwadde ki COVID19.
Omulwadde ono nga ebimukwatako byasikiriddwa, yazuuliddwa abakugu ba KCCA nga bakolaganira wamu ne ttiimu ya minisitule eyateekebwa mu Kampala n’emirilaano okulwanyisa ekirwadde kino.
Okusinziira ku minisita wa Kampala Betty Among, mu kaseera webakwatidde munnabyabufuzi ono yabadde agenda ku Nasser Road okukubisa ebipande byanakozesa mu kalulu akabindabinda.
Kigambibwa nti, ono ku Nasser yabadde amaze ennaku bbiri nga agendayo era nga ekiseera kino abadde atambulira mu takisi.
Ono munnabyabufuzi ssi yasoose, waliwo bannabyabufuzu e Bushenyi ne Mbale abasangibwa n’ekirwadde kino era nga bali mukujjanjabibwa mu malwaliro ag’enjawulo.
Minisita Aceng yalaze nga bwekiri ekizibu okulondoola n’okuzuula bannabyabufuzi ababeera bazuuliddwamu ekirwadde kino olw’ensonga nti basisinkana abantu bangi era nga kizibu okumanya ani gwebasiize ekirwadde.