
Bya Ssemakula John
Busamizi – Buvuma
Omwami wa Kabaka amukulembererako essaza Buvuma, Mbuubi asabye abazadde mu ggombolola ye Busamizi okuweerera abaana era beefirize babawe bye beetaaga olwo basobole okusoma obulungi.
Entanda eno, Mbuubi agiweeredde mu Ssaabaddu Busamizi ku Ssande bw’abadde alambula abantu ba Kabaka mukitundu kino.
Mbuubi abantu ba Beene abasabye okulima emmere ey’okulya era nabateegeza nti agenda kuddayo ku nnono y’okulambulanga okulaba emirimu gyebakola okusobola okweyimirizaawo okusobola okutumbula obukozi mukitundu kino.
Ono asabye abantu ba Kabaka abawangaalira e Buvuma naye nga si baganda obuteekubagiza kubanga Kabaka wa bantu bonna era kasita oli abeera nti amuwa ekitiibwa tewabeera kirala abeera muntu we.
Mbuubi abakuutidde okwongera okuwaayo kyebalina okulaakulanya Obuganda kuba tebusolooza musolo nga ensimbi eziva mukugula satifikeeti awamu n’Oluwalo zeziyimirizaawo emirimu gy’ embuga.
Ono era asinzidde mu kulambula kuno natongoza ekibiina ky’Obweggasi ku kyalo Buwangwe ekya Buvuma Modern Traders SACCO era nabakwas Satifikeeti ya Disitulikiti ebakakasa okubeera mu mateeka.
Ye Ssentebe wa disitulikiti eno, Adrian Wasswa Ddungu akubiriza abantu ba Kabaka okujjumbira enteekateeka za gavumenti zonna ezireeteffwa okubaggya mu bwavu nga Parish Development Model (PDM) era nabasaba okuziggyamu eby’obufuzi bwebaba baagala okuziganyulwamu.

Ssentebe Ddungu abantu ba Beene abasabye bulijjo okujjumbira enkiiko kibayambe okumanya ebintu ebiba bitambula mu Bwakakaba ate ne mu gavumenti eyawakati.
Ate bo abantu ba Ssaabasajja mu Ggombolola eno nga bakuliddwa Omwami w’e Ggombolola Ssaabaddu-Busamuzi, Ssemakula Mbeyagala Antonio basanyukidde nnyo Mbuubi okubalambulako mu bitundu byabwe gyebawangaalira era nebeeyama bulijjo okuwagira enteekateeka za Buganda.
Mukulambula kuno Mbuubi awarekeddwako Abamyuka ba Mbuubi bombi, abakulira ebitongole ku Ssaza, Nampala w’e Ssaza, Ssentebe wa disitulikiti,n’ abaami b’amaggombolola.









