Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Empaka z’emipiira gy’Amasaza zongedde okutaba nga kati ttiimu z’ Amasaza ag’enjawulo agayitamu okuzannya ku mutendera gwa ‘Quarter Final’ zimaze okukasa ennaku kwezigenda okuttunkira okugenda ku mutendera oguddako.
Okusinziira ku byafulumiziddwa ttiimu ezigenda okusooka okukyaza zakubeera mu nsiike ku Lwomukaaga nga 16th Septeber 2023.
Wano Buvuma yakusamba Mawokota ku ssaawa 9 ez’olweggulo ku kisaawe kya Magyo olwo ate Kyaddondo ezannye Buddu ku ssaawa 4 ez’olweggulo ku kisaawe kya Homesdallen.
Ku Ssande nga 17th September, Gomba esambe Ssingo ku ssaawa 10 ez’olweggulo ku kisaawe kya Kabulasoke PTC era mu ngeri yeemu Bulemeezi ettunke ne Buweekula ku ssaawa 4 e Kasana ku kisaawe.
Kino kiddiridde okumaliriza emipiira gy’ebibinja era ku luzannya luno olwa ‘Quarter’ ttiimu zakwezannya emirundi ebiri olwo ezinaaba zisinze okukung’aanya obubonero zigende ku mutendera oguddako.
Ttiimu ezikyali mu lwokaano kuliko; Buweekula, Ssingo, Buvuma, Mawokota, Ggomba, Kyadondo, Bulemeezi ne Buddu.
Empaka zino zivujjirirwa kampuni ya Airtel Uganda, Kansai Plascon, Centenary Bank, CBS Radio, BBS Terefayina awamu n’abalala.