Bya Ssemakula John
Njeru – Kyaggwe
Ttiimu y’essaza ly’e Ssese egudde ekiyiifuyiifu ku Kkooki n’egikuba ggoolo 6-1 n’etangaaza emikisa gyayo okuva mu kibinja kya Butikkiro ate Bulemeezi n’ekuba Mawokota ggoolo 1-0 mu mupiira oguyindidde ku kisaawe kya FUFA Technical Center Njeru ku Lwokuna.
Ggoolo za Ssese ziteebeddwa abazannyi; Andrew Mukasa, Christopher Bwambale ne Abubaker Mayanja ateebye ggoolo 4, ate nga Issa Mugoya y’ateebye eya Kkooki.
Omutendesi wa Ssese Edrisa Walusimbi agamba nti ekibaleetedde okuwangula omupiira guno kwe kuba ng’abazannyi be baguzannye nga fayinolo.
Ye Kapiteeni wa Ssese, Allan Bukenya ategeezezza nti bagenda kuzimbira ku buwanguzi bwe bafunye olwaleero okuwangula omupiira gwayo oguddako, basobole okuyitamu okwesogga omutendera oguddako.
Ggoolo ya Bulemeezi emu yokka eteebeddwa Shafiq Hakiramu mu ddakiika ey’ekkumi n’ettaano mu kitundu ky’omuzannyo ekisooka
Ekibinja kino kati kigenda kukomekerezebwa olunaku olw’enkya n’emipiira ebiri wakati wa Bulemeezi ng’ettunka ne Ssese n’ogwa Mawokota ng’ezannya Kkooki.