Bya Musasi Waffe
Njeru – Kyaggwe
Empaka z’amasaza ga Buganda zizzeemu okutojjera ku kisaawe kya FUFA Technical Centre e Njeru nga Butambala ebadde ezannya ne Buweekula ate Mawogola ng’etunka ne Busujju okutangaaza emikisa gyabwe egy’okuva mu kibinja kya Muganzirwazza.
Ogusoosewo gubadde wakati wa Mawogola ne Busujju era nga gugweredde mu maliri ga ggoolo 1-1.
Ttiimu ya Mawogola yesoose okuteeba ng’eyita mu muzannyi Umar Luswabi mu ddaakiika ey’omunaana (8) ng’ ate ggoolo ya Busujju eteebeddwa Akram Kasaga mu ddaakiika ya 47.
Omutendesi wa Mawogola Jamad Magasi agamba omupiira guno tegubadde mwangu wabula wakuzimbira ku kabonero kano kafunye okuwangula omupiira oguddako.
Ate owa Busujju, Timothy Onyango ategeezezza nti ekibalemeseza okuwangula omupiira guno basubiddwa emikisa mingi.
Mu mupiira ogw’okubiri oguzannyiddwa gubadde wakati wa Butambala ne Buweekula era gugenze okuggwa nga Butambala eguwangudde ggoolo 1-0.
Ggoolo ya Butambala eteebeddwa Faizo Wabyoona mu ddakika 76 era yeewadde Butambala obuwanguzi netangaaza ku mikisa gyaayo okuyitawo.
Empaka zino kati zigenda kuddamu okuzannyibwa ku Lw’okusatu lwa sabiti eno n’emipiira egyisembayo mu kibinja era Buddu yegenda okusookawo ne Mawogola olwo Butambala esambe Busujju.