Bya Musasi Waffe
Balintuma
Ssenkaggale w’ekibiina ki ‘Democratic Party (DP)’ Nobert Mao, ategeezezza nga ekibiina bwekyakosebwa olw’ ababaka 11 kwabo 15 bekirina okusala eddiiro nebadda mu kibiina ki ‘National unity Platform (NUP)’ wabula bakola buli kimu bano okubazzaawo.
Bwabadde ku kitebe ky’ekibiina e Balintuma – Mmengo mu Kampala ku Lwokubiri, Mao agambye nti agenda kukozesa amaanyi gonna galina okuddamu okuzimba DP.
“Nze ndi mukuumi wa kibiina sinze nanyini kyo, bagambye omusota bwegubeera nga gweyubula gubeera mukambwe era bwe bukambwe bwemulaba ensangi zino,” Mao bwanyonyodde.
Mao bwabadde ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze b’ekibiina mu Wakiso ne Kampala agasseeko nti, bangi bakyaggya abantu mu DP kubanga nnyanja ate nga NUP yo eringa ekidiba.
Bino byabadde bikyagenda mu maaso newabaawo ekibinja ky’abavubuka abateeberezebwa okubeera aba NUP abasazeeko ekifo kyonna nga bwebayimba ennyimba eziwaana Bobi Wine.
Ate ye pulezidenti wa Uganda Young Democrats. Christopher Okidi asekeredde aba NUP abajaganya okufuna ababaka okuva mu DP nti tebalina kyebagasseeko kubanga bano era babadde mu Opozisoni nga tewali kyebagatta ku lutalo lwa kuwangula Pulezidenti Museveni.
Eyali omubaka wa Kawempe North Ssebuliba Mutumba agumizza bannakibiina okunywera kubanga kino si bino DP ezze ebiyitamu.