• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mao aweze okuteekawo enkola y’okwogerezanya okulwanyisa okutyoboola eddembe ly’obuntu

Gambuuze by Gambuuze
August 22, 2022
in Amawulire
0 0
0
Mao aweze okuteekawo enkola y’okwogerezanya okulwanyisa okutyoboola eddembe ly’obuntu
0
SHARES
44
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala – Kyaddondo

Minisita avunaanyizibwa ku ssiga eddamuzi n’ensonga za Ssemateeka,  Norbert Mao ategeezezza nti wakukola kyonna okuteekawo enkola y’okuwuliziganya okusobola okulwanyisa ebikola ebityoboola eddembe ly’ obuntu mu ggwanga.

Mao bino abituuseeko bw’abadde ayogera ku alipoota  y’akakiiko ka Palamenti ak’ eddembe ly’obuntu eya 2020 – 2022 eraga eddembe ly’obuntu bweriyimiridde mu ggwanga.

Kinajjukirwa nti alipoota eno yayisibwa Palamenti eyawamu ku Lwokuna nga 18, August 2022 nga yali eraga okulinyirira eddembe ly’obuntu wekutuuse mu ggwanga.

Ekimu ku bikolwa ebinokoddwayo alipoota eno kwekulumbibwa awamu n’okukwatibwa  kw’omukulembeze w’Obusinga bwa Rwenzururu okwaliwo mu 2016 okwakolebwa aba UPDF awamu ne Poliisi.

Mao agamba nti ku nsonga nga zino eggwanga lyetaaga okuwonya kuba ebiwundu bingi ebyasigala ku mitima gy’ abantu.

“Bwetuba twagala okumalawo ensibuko y’ebikolwa bino tulina okusukka ku magezi agatuweebwa ab’ akakiiko abakola alipoota eno. Tulina okwogera ne bannayuganda, tulina okutuukira ddala ku kizibu era kino tekigenda kukolebwa bannabyabufuzi. Minisitule eriko enteekateeka gyekolako okuwonya ebiwundu bino ebyava ku kutulugunnyizibwa,” Mao bw’agambye.

Mao  era avumiridde ebikolwa by’okutulugunya abasibe awamu nokubasibira mu bifo ebitamanyiddwa kyagamba nti ennyingo nnamba 24 eya Ssemateeka w’eggwanga ekigaana.

Ono asabye bannayuganda okukolera awamu okulaba nti ebikolwa bino bikomezebwa mu bwangu era nasaba Palamenti ekulemberemu ku nsonga eno.

Ku nsonga y’emisango egikandaalira, Mao annyonnyodde nga bwebali mu nteekateeka y’okwongera ku balamuzi okulwanyisa ekizibu kino.

Omu ku batuula ku kakiiko kano, omubaka wa Munisipaali ye Bugiri, Asuman Basalirwa olunwe alusimbye mu bitongole by’ebyokwerinda nga bino bikozesebwa abanene mu ggwanga okutyoboola eddembe lya bannansi.

Ye omubaka wa Busiki mu Palamenti,  Paul Akamba annyonnyodde nti emisinde eddembe ly’obuntu kwerityobolerwa mu ggwanga eraga akabi akoolekedde bannansi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist