Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Democratic Party (DP) kiwaddeyo emikono egisemba Ssenkaggale waabwe, Nobert Mao, okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka bonna aka 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/Mao-1.jpg)
Okusinziira ku bannakibiina emikono gye bawaddeyo gisoba mu egyo egiragira mu mateeka era nga kati balinze kimu kya kakiiko ka byakulonda kukakasa muntu waabwe.
“Etteeka liragira emikono gy’abalonzi okuva mu Disitulikiti 100 naye tubawadde gya Disitulikiti 120,” Omwogezi w’ekibiina Okeler Opio bw’agambye.
Aba DP era basabye akakiiko k’ebyokulonda kabawe olwa Mmande nga 2 mu ssaawa z’amalya g’ekyemisana okuwandiisizaako omuntu waabwe era nga bakakasa nti wadde ebula ennaku 2 okutuuka ku nsalessale, tebalina kwekengera kwonna ku kusunsulamu omuntu waabwe.
Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Paul Bukenya, agambye nti tebasobola kugaana mikono gya DP naye n’alaga okutya nti bayinza okuba ekikeerezi singa wabaawo ekyetaaga okutereeza mu mikono gino.
Ssenkaggale Nobert Mao ye yawangula kkaadi y’ekibiina kya DP okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka bonna aka 2021.
Bino we bijjidde ng’akakiiko k’ebyokulonda kaamaze dda okufulumya amakubo agagenda okukozesebwa abeesimbyewo ku bwapulezidenti nga bagenda okwewandiisa ku bwapulezidenti Ssabbiiti ejja ku kisaawe e Kyambogo.