• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Mao agamba agamba aba NRM bakuwagira Siranda akiike mu East Africa, avumiridde enkwe mu Opozisoni

Gambuuze by Gambuuze
March 7, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Mao agamba agamba aba NRM bakuwagira Siranda akiike mu East Africa, avumiridde enkwe mu Opozisoni
0
SHARES
51
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mbale

Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party, Norbert Mao agamba nti asazeewo okukolagana n’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) yeesonyiwe aba National Unity Platform (NUP) ne Forum for Democratic Change (FDC) b’agamba nti baamulyamu olukwe.

Mao  bw’abadde ayogerako eri abakulembeze ba DP e Mbale, abategeezezza nti kati akolagana ne NRM kuba alabye ng’esobola bulungi okubayamba okutuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’ okukwata obuyinza.

Ono era annyonnyodde nga bw’agenda okutabaala eggwanga lyonna mu nteekateeka y’okuddamu okuzimba ekibiina mu bitundu ebyenjawulo.

Mao agamba nti emikago n’enkolagana ya Opozisoni tebirina makulu era abasinga bakolerera kusuula kibiina kya DP.

“FDC ne  NUP babadde batugamba nti ffe bamu naye ate batwala abaakulembeze b’ekibiina kino mu kalulu akawedde nga tewakyali nsonga ya kweyisaako.” Mao bw’annyonnyodde.

Mao ataddewo obukkwakulizo aba NUP ne FDC bwe baba baagala okukolagana naye.

“Bwe baba aba NUP n’ebibiina ebirala baagala okukolagana naffe bajje ku mmeeza tutuule ku kiruubirirwa. Olwo tujja kukkaanya ku buvunaanyizibwa bwa buli omu. Bwetutyo bwe twayingira mu bizibu mu 1986 olwokubulwa kyet tukkaanyaako,” Mao bw’agasseeko.

Mu kaseera kano Mao agamba nti akolera wamu ne NRM kuba kisobola bulungi  okuwangula obuyinza bwe bazze banoonya.

Enkolagana ya NRM, Mao agamba nti yavuddemu dda ebibala kuba yakkiriziganyiza naba NRM okuwagira munna DP, Gerald Siranda okukiika mu Palamenti ya East Afirika.

Kinajjukirwa nti waliwo abakulembeze ba DP abaava mu DP ne beesogga NUP era kino kyatabula Mao wamu n’abakulembeze ba NUP e Kamwokya era Mao abadde buli lukya alumba aba NUP.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist