Bya Ssemakula John
Kampala
Eyeesimbyewo ku bbendera y’ekibiina kya National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), asaabuludde bannabyabufuzi abakola enteekateeka ennungi mu Manifesito mu kadde k’akalulu n’ategeeza nti, kino tekimala singa abakulembeze tebabeera beetegefu okufaayo n’okuyamba omuntu wa wansi.
Bino Bobi Wine abyogeredde Kakyeeka mu kisaawe mu kibuga Mbarara bw’abadde agenzeeyo okutongoza Manifesito ye, leero ku Lwomukaaga.
“Manifesito ennungi kubeera kumala biseera singa omukulembeze talumirirwa bantu ba wansi n’okulaba ng’akyusa embeera y’obulamu bwabwe.” Kyagulanyi bw’agambye.
Kyagulanyi ategeezezza ng’ekibiina ekiri mu buyinza bwe kizze kikola ebisuubizo eri abantu okuva mu 1996 era nga kirina ne Manifesito ennungi buli kalulu, naye bye bakola birala nnyo, ng’oluusi beegaana n’ebisuubizo bye bakola.
“Mu kalulu akaggwa, Pulezidenti Museveni yasuubiza okuwa abaana abawala ‘Sanitary Pads’ ez’obwereere n’okutuusa olunaku lwaleero ezisuubizo ekyo kiringa ebirala by’azze akola, tekituukiriranga.” Kyagulanyi bw’alambudde.
Wadde Minisitule y’ebyenjigiriza yavaayo n’ategeeza nga gavumenti bwe talina nsimbi zaakugula paadi zino, Kyagulanyi agamba nti gavumenti y’emu efuna ssente z’egulamu abali ku ludda oluvuganya n’okugulamu ttiyaggaasi naye nga tesobola kuyamba baana ba ggwanga.
Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni ku Lwokubiri yatongozza Manifesito n’alaga nti essira waakuliteeka ku by’okwerinda, okunoonyeza ebikolebwa kuno akatale wamu n’okuwa bannansi eby’okukola n’okutumbula ebikolebwa munda mu ggwanga. Bino Kyagulanyi agamba nti bye bimu ku birimbo omukulu by’akozesa.
Kyagulanyi ategeezezza nti ekibiina kya NUP, tekiriiwo kugula buganzi nga kisuubiza ebitasoboka naye baagala kukwatagana ne bannayuganda okukyusa embeera mwe bali.
Bw’abadde atongoza Manifesito ye e Kakyeeka, Bobi Wine ategeezezza nti singa alondebwa, waakukyusa ebyobulamu, ebyenjigiriza, atumbule tekinologiya era awe abakozi ba gavumenti omusaala ogwegasa nga mu kino ab’ebyokwerinda, abasawo n’abasomes, omusaala gwabwe ogutandikirwako gujja kuba ku kakadde kamu.
Kyagulanyi asuubizza okutondawo emirimu obukadde 5 singa bannayuganda banaamuwa obwesige ne bamulonda. Bobi Wine agambye nti agenda kulaba nga Ssemateeka assibwamu ekitiibwa era nga singa omukulembeze anaakyusa Ssemateeka okwekuumira mu buyinza okusukka ebisanja ebibiri, ajja kuba azzizza gwa Nnaggomola era ng’avunaanwa gwa kulya mu nsi lukwe.