
Bya Ssemakula John
Kampala
Munnamateeka Male Mabirizi anoonya we yeekukuma oluvannyuma lwa kkooti enkulu mu Kampala okumusindika mu kkomera amaleyo omwaka mulamba n’ekitundu lwakuyisa maaso mu kkooti n’abagikulembera.
Kino kiddiridde Male Mabirizi okugaana okulabikako era n’apangisa munnamateeka Noel Nuwe owa Ojok and Co. Advocates amuwolereze mu musango Ssaabawolereza wa gavumenti mw’ayagalira asindikibwe mu kkomera olw’okuyisa olugaayu mu kkooti.
Mabirizi abaddenga ye yeekiikirira mu misango gye naye ku luno yalagidde Nuwe amuwolereze ng’atya nti ayinza okukwatibwa ng’alabiseeko ku biragiro by’Omulamuzi Musa Ssekaana.
Omulamuzi Ssekaana yatandika okufuna obutakkaanya ne Mabirizi mu mwaka 2009 bwe baali mu musango nga Mabirizi awakanya okulondebwa kw’Omulamuzi Simon Byabakama ku bwassentebe bw’akakiiko k’ebyokulonda nga tasoose kulekulira kifo kye ng’omulamuzi wa kkooti ejulirwamu.
Wiiki ewedde Omulamuzi Ssekaana yayisa ekibaluwa ku Mabirizi ng’amulagira okulabikako annyonnyole lwaki tasindikibwa mu nkomyo olw’okuyisa olugaayu mu kkooti wabula Mabirizi n’aweerezayo munnamateeka Nuwe.
Bw’abadde awulira omusango guno ogumaze akaseera akatono, Omulamuzi alagidde Nuwe okudda mu kkooti ku Lwokubiri wabula bw’abuziddwa lwaki ku luno Mabirizi yasazeewo afune munnamateeka, agambye nti kino ky’ayagala era kiri mu mateeka.
Wabula Mabirizi agamba nti omulamuzi yakozeemu ensobi okumuteekako emisango gino nga tasoose kumanya oba omukutu gwa Facebook ogwaliko obubaka obuvvoola kkooti eno kituufu gugwe era agenda kujulira ku musango guno.









