Bya Ssemakula John
Kamapala
Ssettendero wa Makerere University alangiridde nti, atandise okukozesa omusaayi gwabawonye ssennyiga Corona okujjanjaba abalina ekirwadde kino.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Minisita-Aceng.png)
Kino kirangiriddwa Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng, leero ku Lwokusatu bwabadde atongoza enkola eno e Makerere mu Kampala.
Aceng yagambye nti, enkola eno ekyali ku mutendera gwakunoonyereza era nga egenda kukozesebwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago wamu n’amalwaliro agali ku mutendera gwa ‘Refferal’ nga yakulirwamu Dr. Bruce Kirenga.
“Okugezesa obujjanjabi buno okusinga kugenda kubeera Mulago naye nga abakugu basabye n’amalwaliro amalala gyebajjanjabira abalina Corona genyigiremu era njagala okubeebaza nti beetegese okutandika olunaku lw’enkya,” Aceng bweyategeezezza.
Omukugu akuliddemu okunoonyereza ku nzijjanjaba eno Dr. Bruce Kirenga, yategeezezza nti bamaze dda okukungaanya ‘Unit’ z’omusaayi 100 okuva ku bantu abawonye ekirwadde kino zibayambe mukugezesa kuno.
“Kyetukola kwekukwata obusirikale obulwanyisa ekirwadde kino okuva mu musaayo gw’ abantu abawonye netubuwa abalwadde abatabulina nekiyamba okulwanyisa ekirwadde kino,” Kirenga bweyanyonyodde.
Kirenga yategeezezza nti, omusaayi guno ogwagyiddwa ku bawonye bakugukozesa okujjanjaba abalwadde abali mu mbeera embi wamu naabo abatali bubi nnyo okutangira ekirwadde okubanafuya.
Yanyonyodde nti, bebaggyeeko omusaayi ogugenda okukozesebwa basangiddwa n’obusirikale obulwanyisa endwadde eziggwa mutuluba lya SARS -COV-2 nga muno mwemuli ne ssennyiga Corona.
Kirenga yagasseeko nti, okufuna omusaayi guno batuukiridde abantu abawonye ekirwadde kino abawera 192, ku bano 179 babadde bakkirizibwa okugaba omusaayi kuba babadde baweza emyaka 18.
Ku bano 162 basobodde okubakungaanyamu ‘Unit’ 162 naye ku guno bakafunako ‘Unit’ 127 zebasobola okukozesa mukunoonyereza kuno.
Ono yanyonyodde nti, okusobola okujjanjaba omulwadde omu beetaaga ‘Unit’ z’omusaayi bbiri.
Kirenga yalaze nti, bakizudde abantu abakawona ekirwadde kino balina obusirikale bungi obulwanyisa ekirwadde kino.
Okugezesa obujjanjabi buno kugenda kukolebwa ku balwadde 136.
Dr. Winters Mulumba omu ku bali ku mulimu guno yagambye nti, wadde ‘Unit’ z’omusaayi zebalina tezimala balwadde bonna 136 naye basuubira okufuna ezibulayo mu bwangu kuba ekitono buli mulwadde yetaaga ‘Unit’ bbiri ez’omusaayi guno.
Obujjanjabi buno bwatandika dda okukozesebwa mu mawanga nga India, South Africa ne Ghana era nga kyazuulibwa nti omusaayi gwabawonye guyamba gukendeeza ku nsaasaana y’ekirwadde kino.