Bya Jesse Lwanga
Mpatta
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku mwalo gw’e Buwunga mu ggombolola y’e Mpatta mu disitulikiti ye Mukono, maama bw’akutte omwana we ne beesuula mu nnyanja bonna ne bafiiramu.
Maama ono, Sylvia Nakyejwe 26, abadde yaakajja ku mwalo guno nga kigambibwa nti yanoba mu bitundu by’e Nansana mu Wakiso n’addukira e Mukono. Okusinziira ku batuuze, ono bakomye okumulabako mu kiro ekyakeesezza olwaleero nga bali mu bbaala emu.
Bano bategeezezza nti kibakubye wala okuddamu okuwulira nti ono yeesudde mu nnyanja.
Omu ku batuuze, Geofrey Byakatonda, ategeezezza nti omugenzi abadde mukwano gwe era nga tabadde nabuzibu ku muntu yenna, naye beewuunyizza okubayita nti ono yesse ne muwala we ow’emyaka 2.
Okusinziira ku ssentebe w’omwalo guno, Stephen Alyobe, yagambye nti ekitundu kyabwe entiisa eno ekikubye wala era n’asaba abakyala ababeera bafunye obuzibu, okukozesa bannabakyala okubugonjoola okusinga okwetta.
Oluvannyuma poliisi okuva e Mpatta ezze n’etegeeragana n’abazadde b’omugenzi nebabawa omulambo ogukutwala baguziike.