Bya Musasi Waffe
Kampala
Ttiimu ya Express FC yefunze akatale k’abazannyi ku murundi guno nga egula abasambi abawerako esobole okuvuganya obulungi mu Liigi y’eggwanga sizoni ejja.
Ku Lwokubiri yaguze omusambi Godfrey Lwesibawa, oluvanyuma lw’endagaano ye ne ttiimu ya Tooro United okuggwako. Ono kati awezezza omuwendo gw’abasimbi abaguliddwa ku basambi Mukaaga.
Lwesibawa yaliko mu ttiimu eno, ku luno awereddwa endagaano ya myaka 2 okutuuka mu mwaka gwa 2022.
Omuwuwuttanyi Lwesibawa yalaze nga bwesunze okuwangulira ttiimu ya Express ebikopo naddala ekya liigi.
Lwesibawa tazzeemu kwegatta ku Express kyokka wabula asanze omutendesi Wasswa Bbosa gwaludde nga asambira mu ttiimu ez’enjawulo okuli; SC Villa ne Tooro United.
Weyabeerera mu Express mu 2014 ne 2016, Lwesibawa yateeba ggoolo munaana (8) ate nayambako ggoolo endala 25 okunywa.
Lwesibawa yeyunze ku basambi ; Cryspus Kusiima , Denis Otim ,Richard Bbosa, Abel Eturude ne Kiragga Mustafa.
Sizoni ewedde, Express yamalira mukifo kya Mwenda (9) n’obubonero 31 okuva mu nzannya 25.