Lukyamuzi Joseph
Nga 14 omwezi ogwa Gatonnya mu 2021, bannayuganda beeyiwa mu bungi ku bifo ebironderwamu okulonda abakulembeze baabwe ku mutendera ogwa Pulezidenti awamu n’ababaka ba Palamenti abanaabakulembera okuva mu 2021 okutuuka mu 2026 okusinziira ku Ssemateeka nga bw’ali olwaleero.
Akalulu kaagenda okumala okubalibwa ng’akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde Yoweri Kaguta Museveni ng’eyawangula ekyobukulembeze bw’eggwanga.
Ate ku bwammemba bwa Palamenti ebyavaayo ebitongole biraga nti ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyafuna ebifo 336, NUP n’efuna ebifo 61, FDC n’efuna ebifo 36, DP ebifo 9, UPC ebifo 9, Justice Forum ekifo 1 awamu ne PPP ekifo 1.
Wabula olwokuba amawanga gano agaffe tukkiririza nnyo mu ndowooza eya Joseph Stalin eyagamba nti abalonda akalulu si be basalawo ebivaamu, wabula abakabala, kumpi buli kalulu naddala ku mutendera ogw’omukulembeze w’eggwanga mubeeramu vvulugu mungi. Ensonga era zitera kuggweera mu kkooti Ensukkulumu era ne ku luno tewaliiwo njawulo.
Eyalangirirwa ng’eyakwata ekyokubiri, Robert Kyagulanyi Ssentamu, yalagira balooya be okuwaaba mu kkooti Ensukkulumu kyokka omusango ku luno tegwawulirwa kubanga mu kaseera katono nnyo ate yalagira balooya be omusango okugugyamu enta olwa kye yagamba nti abalamuzi abaali bagutuddemu baalina kyekubiira atalabibwangako.
Kinajjukirwa nti Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yali agenda okuwaaba omusango guno yategeeza abawagizi be nti baali bagenda mu kkooti Ensukkulumu nga tebasuubirayo kya njawulo ku nsala endala z’eze ekola mu misango nga gino. Era yakozesa ekigambo nti tugenzeeyo ‘kubalabisa.’
Singa ekitongole ekiramuzi ebigambo bya Kyagulanyi kyali kibitutte nga bikulu, osanga kyandyegenderezza nnyo engeri gye kyandikuttemu omusango ogwo era ne kyewala ‘okwerabisa’ Kyagulanyi kwe yali ayogeddeko.
Omuntu akyayinza okugamba nti eno baali mu mateeka si mu byabufuzi naye omusango ogwo eri omuntu yenna alimu ensa, abeera asobola okukitegeera nti okusinga gusalibwa gusinziira ku byabufuzi so si mateeka.
Saagala kudda mu bya Kyagulanyi kusaba abalamuzi abamu okwesonyiwa omusango olwa kakwate ke balina n’abawawaabirwa oba Ssaabalamuzi okudda mu kuyomba n’omuwaabi ate nga yali asuubirwa kubeera mukkakkamu mu mbeera yonna.
Olwaleero njagala tutunulire nnyo oba kyali kisaanidde Kyagulanyi okuggya omusango mu kkooti nga tegunnawaulirwa era ani yafunamu era ani yafiirwa. Robert Kyagulanyi ng’omuntu yafunamu ate era n’afiirwa. Yafunamu mu ngeri y’ebyobufuzi okukkirizisa abawagizi be n’abantu abalala abatekenneenya nnyo nsonga nti ddala kkooti za Ssemateeka nfu bwe fuffululu eziteetaaga kwesigibwa wadde n’olunaku n’olumu. Ssaabalamuzi Owiny Dollo musajja wattu ye enkovu gye yafuna mu buweereza bwe mu kisaawe ky’amateeka terimuvaako era alikkirira nayo mu ntaana. Wabula Kyagulanyi era yafiirwa kuba yeesubya okuyingira ebyafaayo mu nsibuko y’okukyusa amateeka agafuga ebyokulonda.
Buli musango ogugenda mu kooti Ensukkulumu guyamba bannamateeka okwetegereza ensonga ezaalimu obumulumulu mu butongole era gisinziirwako oba girisinziirwako mu maaso gye tulaga okubaga amateeka agalitereeza ensonga zino okuba okuteekawo obuwayiro obukugira ebyaliwo okuddibwamu. Kino Kyagulanyi ayinza okukitwala ng’ekyokuzannya naye bwe buba bugolo alibwasimula mu 2026 oluusi ng’ebintu bye bimu bizzeemu okumukolebwako ate nga byali bisobola okulagirwa ku mulundi omulala bireme kuddibwamu.
Bannayuganda n’abajagaliza ebirungi okuggibwayo kw’omusango guno kwabasala amagenda n’amadda. Bw’oyogera ne bannamateeka abatalina ludda awamu na b’oludda oluvuganya abatatya kwogera ndowooza yaabwe, bangi bagamba nti omusango bapuliida ba Kyagulanyi baguzannyiramu. Balaga ng’obujulizi obwaleetebwa bwe bwali obwomunguuba ate ng’obujulizi obuzitowa bwaliwo. Bagamba n’okugamba nti eyakulembera okuwaaba teyalina bumanyirivu mu nsonga zino kuba gwe gwali omulundi gwe ogusooka mu kkooti Ensukkulumu ate nga ku ttiimu gye yali akulembera mwalimu omumanyirivu ku kkooti Ensukkulumu era ng’omukugu oyo ayogerwako ne mu kkampuni mwe bawoleza bwombiriri era ye mukama w’oli omulala ate eyakulemberamu.
Wabula omukugu ayogerwako ku nsonga ezo waggulu wadde yeewala okuzoogerako bulambalamba ye yagamba nti abalamuzi ba kkooti Ensukkulumu balinga mukyala muzaalisa, nti mulimu gwe okuyamba oyo azze nga gwe mulundi gwe ogusoose okuzaala okumuyigiriza okusindika omwana naye nti tamugoba bugobi nti nviira ne by’okola tobitegeera.
Uganda yasuubwa okulaba abalamuzi engeri gye bandisaze ku nsonga y’ebifo ebironderwamu ebisoba mu 400 nga kumpi byonna bya mu Bugwanjuba bwa Uganda ng’eno abantu bonna abeewandiisa ng’abalonzi mu bifo ebyo bonna tewali wadde eyafa, wadde eyali omulwadde, wadde eyali asenguse, wadde eyalina entondo n’atalonda nga bonna baavaayo ne balonda ate akalulu kaabwe ne bakawa omuntu omu yekka. Kituufu kisoboka naye era kireetawo ebibuuzo ne bwekibeera kifo kimu kyokka.
Abakugu mu mateeka era baalaga obwennyamivu olwomusango guno okuggibwayo nga teguwuliddwa ekyasubya eggwanga omukisa okulaba engeri abalamuzi gye bandiwabudde eggwanga engeri embeera ya kalulu gy’eyinza okukwatibwamu mu katyabaga akalala akalifaanana nga ke twesangamu aka COVID-19. Abalamuzi bandyogedde ki ku ky’amagye okwenyigira obutereevu mu kukwasisa amateeka mu kalulu nga n’okutuuka kati abamu ku baakwatibwa bakyali mu budukulu bw’amagye era nga bavunaanibwa kkooti y’amagye.
Mu bufunze, kyetaagisa emboozi ennambulukufu ku nsonga y’omusango guno engeri gye gwakwatibwamu enjuyi zonna ezaagulimu okuva ku yaloopa wuuyo ku bawawaabirwa okutuuka ku baali balina okuguwuliriza. Kyankuba wala bwe nnabuuza munnamateeka w’oyo eyali ku mwanjo mu bawawaabirwa nga njagala ambuulire ku lw’obulungi bw’eggwanga oba omusango yandyagadde guveeyo oba nedda, n’antegeeza nti bo nga bapuliida bawooza musango gubapangisiddwa kuwooza so si ku lwa bulungi bwa ggwanga oba nedda. Kituufu munnamateeka apangisibwa kola ssente, naye ensonga ezimu tezeetaaga kubeera na bigendererwa bisukka ku nsimbi? Ng’eggwanga ebikyatusoomooza bikyali bingi nga mwe muli obwenkanya n’obulambulukufu buli lwe wabaawo okuvuganya.
Omuwandiisi
Munnamawulire