Bya Musasi waffe
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo n’akuba ekiragiro ng’akyusa erinnya lye n’agattako lye yakozesanga mu buto erya Tibuhaburwa.
Museveni yakubye ekiragiro era n’alanga mu mawulire ng’etteeka lya ‘Registration of Persons Act’ bwerirambika era nga kati ye Tibuhaburwa Kaguta Museveni, luli abadde amanyiddwa nga Yoweri Kaguta Museveni.
Wadde erinnya lino libadde lyogerwako abantu abamu naye Museveni abadde talikozesangako mu bbanga ly’emyaka 35 ly’amaze ng’akulembera.
Okusinziira ku kirango ekyayise mu mawulire nga October 6, Museveni yalaze nti yazaalibwa mu Gwamwenda1944 era n’atuumibwa Yoweri Tibuhaburwa Kaguta.
Ono yategeezezza nti zo empapula ze ez’obuyigirize ziri mu mannya ga Yoweri Tibuhaburwa Museveni.
“Okuva lwe namala okusoma, amannya Yoweri Museveni, Yoweri Tibuhaburwa Museveni, Yoweri Kaguta Museveni ne Yoweri Tibuhaburwa Kaguta Museveni gonna gabadde gakozesebwa okutegeeza omuntu y’omu era nga y’enze.” Museveni bwe yagambye mu kirayiro kye yakubye.
Etteeka lya ‘Registration of Persons Regulations Act’ libadde litadde bannabyabufuzi ku nninga ku nsobi eziri mu mannya gaabwe era nga wabaddewo ebigambibwa nti abamu bandiremesebwa okwesimbawo mu kalulu ka 2021.
Kigambibwa nti Pulezidenti Museveni yayagadde kugondera ekiragiro ky’akakiiko k’ebyokulonda akabadde kasaba abeesimbyewo okufuba okulaba ng’empapula ze bakozesa okwewandiisa zikwatagana n’ebyobuyigirize bwabwe oba si ekyo tebagenda kuwandiisibwa.
Abamu ku batunuulizi bagamba nti kivudde ku kazito munnamateeka, Muwada Nkunyingi owa National Unity Platform (NUP) ke yatadde ku kakiiko k’ebyokulonda ng’akasaba kamuwe empapula za Pulezidenti Museveni.
Wadde mu kusooka akakiiko kaali kakkiriza okusaba kwa Munnamateeka Male Mabirizi, bwe yasaba empapula za Robert Kyagulanyi naye ku Muwada kagaana, nekategeeza nti kyali tekyetaagisa.