Bya Ssemakula John
Masaka
Omumyuka wa Democratic Party (DP) mu ggwanga lyonna, Fred Mukasa Mbidde, yalangiridde mu lwattu eggulo ku Mmande nti, waakuwagira Munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu wadde nga ne Ssenkaggale wa DP, Nobert Mao mu lwokaano mw’ali.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/Mukasa-Mbidde-1-712x375-1.jpg)
Mbidde nga mu kaseera kano mubaka wa Uganda mu palamenti ya East Africa, okulangirira kino, yabadde atongoza kampeyini ze, okuvuganya ku bubaka bwa Nyendo -Mukungwe mu kibuga Masaka.
Ono agamba nti batudde ne mukama we Nobert Mao n’amukkiriza awangire Kyagulanyi.
“Nayogedde ne mukama wange, Nobert Mao ne musaba anzikirize noonyeze Robert Kyagulanyi Ssentamu akalulu era n’akkiriza.” Mbidde bwe yategeezezza.
Wabula abatunuulizi b’ensonga bagamba nti kino kigenda kukosa ekibiina kya DP n’amaanyi gaakyo mu Masaka, kubanga Mbidde ky’ekikonge ekyokubiri okusuulawo Mao ne kigenda okuwagira Kyagulanyi.
Eyasooka ye muwanika w’ekibiina era omubaka Mary Babirye Kabanda, naye eyavaayo n’alangirira okuwagira Kyagulanyi ku kifo ky’obwapulezidenti, kuba bannamasaka gwe baagala.
Mbidde eyajjidde ku kkaadi ya DP era yategeezezza abawagizi be nti, Mao yamukkiriza okukozesa akabonero ka ‘People Power’ ku bipande bye ng’obukakafu nti ono ajja kunoonyeza Kyagulanyi akalulu.
Ono avuganya Omubaka Mathias Mpuuga eyaakasala eddiiro okuva mu DP n’adda mu NUP era nga ye mumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina mu Buganda, nga mu kadde kano y’akiikirira ekibuga Masaka.
Tekimanyise oba nga Mbidde ne Kabanda banaayaniriza Ssenkaggale Mao ng’atuuse mu Buganda naddala mu Masaka oba era banaasigala ku Kyagulanyi nga bwe beeyamye.
Abamu ku bawagizi b’ekibiina kino bagamba nti kino kyandyongera okunafuya ekibiina kino mu Buganda.