Kampala
Ebitundu 50 ku buli 100, ku baagala obubaka bwa Palamenti mu kalulu ka 2021, tebalina bibiina kwe bajjidde era nga kano ke kamu ku bululu akasinzeemu ababaka abatalina bibiina.
Okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa omukutu gwa Uganda Radio Network, abeesimbyewo 1338 ku abo 2,659 abaagala obubaka bwa Palamenti, tebalina bibiina nga bano bakola ebitundu 50.3 ku buli 100.
Okunoonyereza kuno kulaze nti buli kalulu lwe katuuka omuwendo gw’abeesimbyewo ku lwabwe. Mu 2016 abantu 1747 be baavuganya ku kugenda mu Palamenti nga ku bano 909 tebalina kibiina kyonna.
Abalala abawera 1,321 kuliko abalina kkaadi ya National Resistance Movement (NRM) abawera 487, 281 aba Forum for Democratic Change (FDC), National Unity Platform (NUP) 242, aba Democratic Party (DP) 120 n’aba Alliance for National Transformation (ANT) 116.
Abalina bbendera kuliko 42 aba Uganda People’s Congress (UPC) 42, Justice Forum (JEEMA) 19, Ecological Party of Uganda (EPU) 5, Peoples Progressive Party (PPP) 3, aba Conservative Party (CP) 2 ate ng’ekibiina kya Uganda Economic Party (UEP) Congress Service and Volunteers organization (COSEVO), Social Democratic Party (SDP) ne Forum for Integrity in Leadership (FIL), buli omu asimbyewo omuntu omu.
Ebiriwo biraga nti Jinja Division North y’esingamu abantu abatalina kibiina nga bano bawera 12 n’eddirirwa Samia Bugwe North n’abeesimbyewo 11 ate Kiguli South yo erina abantu 10 nga bonna tebalina bibiina.
Essaza lya Bbale, Nakawa West ne Kigulu North waliwo abavuganya 9 ku buli kifo nga tewali alina kibiina.
Ebifo ebirala omuli abantu abangi kuliko; Bunya East, Toroma County, Laroo-Pece division, Bukooli Central n’ekifo ky’omubaka omukyala owa Kibuku abawera 8 nga bonna tebalina kibiina.
Aba Aswa, Bugabula South, Busiki North, Budaka Woman MP, Namayingo South, Bunyangabu County, Rukungiri n’ekibuga kya Busia, wonna abavuganya bali 8 era nga tebalina kibiina.
Omukugu wa Netherlands Institute for Multi Democracy, Frank Rusa, yagambye nti ekizibu kiva ku bibiina bya gavumenti ebigundiivu mu ggwanga okulemwa okutuuka wansi mu bantu.
Rusa yannyonnyodde nti omuwendo gw’abatalina kibiina ogweyongera guvudde ku ba by’okwerinda abayitiriza okutuntuka ebibiina by’ebyobufuzi mu ggwanga.
Omukugu mu by’okulonda Crispin Kaheru, ategeezezza nti kino kiraga ng’abantu bwe baggye obwesige mu bibiina by’obufuzi era nga bannayuganda okusinga batunuulira busobozi bwa muntu so si kibiina.
Kaheru agamba nti ku mulundi guno abatalina bibiina bagenda kusinga ku babaka ba NRM n’oludda oluvuganya.
Ate omutunuulizi w’ebyobufuzi Yasin Ssekamatte agamba nti ebibiina by’obufuzi biremeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabyo era nga tebirina ky’amaanyi kye biyambye beesimbyewo.
Bya URN