• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Luyirika owa NUP awangudde obwasipiika bwa KCCA

Gambuuze by Gambuuze
June 1, 2021
in Amawulire
0 0
0
Luyirika owa NUP awangudde obwasipiika bwa KCCA
0
SHARES
144
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Ekibiina ki NUP kiwangude ekifo kya Sipiika wa Kampala Capital City Authority ne kimegga NRM ebadde esimbyewo kkansala w’abavubuka ku kifo kino. Olukiiko lwa KCCA olukulu olwaleero lulonze sipiika agenda okuddukanya emirimu mu kisanja kino ng’embiranyi ey’amaanyi ebadde wakati w’ekibiina kya NUP ne NRM era gye biggweeredde nga KCCA ekyetisse era n’ewangula eggombolola 3 ku ggombolola 5 ezikola ekibuga Kampala.

Ku ssaawa 5 ezenkya ssenkulu wa KCCA, Dorothy Kisaka n’omulamuzi Ayo Mirriam Okello, batuuzizza olukiiko olusoose era okulonda ne kutandika.
Akalulu kano akabadde akeekyama kabadde wakati wa munnakibiina kya NUP, Zahara Luyirika nga ye kkansala wa Makindye ng’attunse ne munnakibiina kya NRM, Shamim Namukasa.

Gye biggweeredde nga Luyirika awangudde n’obululu 43 ate NRM n’efuna obululu 8.
Oluvannyuma omumyuka wa Sipiika wa KCCA alondeddwa era okukkakkana nga Nasur Masaaba owa National Unity Platform (NUP) akalulu akawangudde bw’afunye obululu 12 ate Allan Mwesige owa NRM n’afuna obululu 9 bwokka.

Omuloodi Lukwago oluvannyuma lw’okufuna amawulire ku Sipiika alondeddwa, amuyozaayozezza era n’asuubiza okukolagana n’abakulembeze abaggya era ng’abasabye buli ludda luwe lunnaalwo ekitiibwa.
Ono agamba nti Kampala alina okusoomoozebwa okw’amaanyi nga kye kiseera bagatte amaanyi okuweereza abantu.

Ate okulonda basipiika b’eggombolola 5 ezikola ekibuga Kampala kwetobeseemu emivuyo egy’amaanyi era mu ggombolola ezimu okulonda kuggweeredde mu kusika muguwa era awamu eng’uumi zinyoose.
E Makindye n’e Lubaga, okulonda sipiika kuzzeemu omukoosi; bakkansala bwe batandise okulwana era bangi bavuddeyo n’ebisago abalala bakaabye ate abamu ne bazirika.

Kabadde kaseera ka kusoomoozebwa nga munna NRM , Musa Mbaziira awangula munna NUP, Rehema Ffuge, ekitabudde bakkansala ba NUP kubanga be basinga obungi ku lukiiko luno.
Bano batandise okwerangira okulya enguzi ne batunda ekibiina era ekiddiridde kwe kukubagana ebikonde, embeera eyongedde okutabuka okutuusa poliisi bw’etuuse era embeera n’edda mu nteeko.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist