Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, aka Bobi Wine afulumizza olukalala lw’abantu 423 people, bagamba nti baawambibwa ab’ebyokwerinda okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Eggulo, Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga Jeje Odongo yalaze olukalala lwa bantu 177 bagamba nti bakwatibwa ab’ebyokwerinda kyokka Kyagulanyi agamba nti ku lukalala lw’alina abali ku lwa Minisita bali 89 bokka. Bino Kyagulanyi abiyisizza ku mikutu gye egy’omutimbagano n’alaga okunyolwa olw’ebyo ebigenda mu maaso. “Tukakasizza abawagizi baffe 423 bawambibwa era tebalabikako kyokka Gen. Jeje Odongo ku bayogedde kuliko 89 bokka! Gen. Museveni alina okukomyawo abantu baffe. Olukalala lwaffe era lulaga abantu abakomezeddwawo n’ebisago ebyamanyi awamu nabo abattiddwa.” Kyagulanyi bw’agambye.
Guno gwa mulundi gwakubiri nga Kyagulanyi eyavuganya Museveni mu kalulu ka 2021 avaayo n’olukalala lw’abantu abazze bawambibwa. Omwezi oguwedde yalaga nti abawagizi be 243 baawambibwa era n’ategeeza nti ate abalala 3000 baali baakuzuula wa we bali nabo nga kyali kirowoozebwa nti baawambiddwa. Bo ababaka ba Palamenti ku Lwokuna baategeezezza nti tebabadde bamativu n’olukalala olwafulumiziddwa gavumenti. Ababaka bagamba nti abantu bangi abaawambibwa omwala oguwedde tebateekeddwa ku lukalala luno.
“Ngoberedde olukalala lwa Minisita naye teluweza wadde ekimu eky’ekkumi ku lukalala nze lwe nina. Twetaaga okumanya abantu bano gye bali.” Omubaka Mpuuga bwe yategeezezza n’alaga nti olukalala lw’alina lulaga abantu 423 abatalabikako.
Ababaka basabye obukakafu okuva mu gavumenti oba ebikolwa ekika kino byakwongera okulabibwako wabula ku nsonga eno, Minisita Jeje Odongo yagambye nti singa munnayuganda azza omusango amateeka gakkiriza ab’ebyokwerinda okumukwata.












