Bya Musasi waffe
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Kasule Lumumba, atabuse n’alagira abeesimbyewo ku lwabwe, bakomye okwefuula abaagala ekibiina bwe baba tebasobola kulekera baafuna bbendera kuvuganya mu kalulu ka 2021.
“Kisingako ekibiina okiveemu mu kifo ky’okwefuula nti oyagala NRM ate nga weesimbyewo okuvuganya omuntu alina kkaadi y’ekibiina, temukozesa kibiina ate okukisuula n’okukinafuya nga mwawulamu obululu bwakyo.” Lumumba bwe yagambye
Lumumba okutabukira bano, yabadde mu bitundu bya Ankole eggulo ku Lwomukaaga ng’asimbula ebibinja by’abavubuka ebigenda okuwenjeza abeesimbyewo ku kkaadi z’ekibiina obululu wansi mu byalo.
Ono yasinzidde wano n’asaba bannayuganda okulonda bakukwate mu ddembe era bawuliziganye wadde basobola okuba nga tebakkaanya mu ndowooza za byabufuzi.
Oluvannyuma Lumumba yeeyongeddeyo e Ntungamo mu kutongoza ekibiina kya Ntungamo Action Network abawera 350 nga bano nabo bafunvubidde okunoonyeza abalina bbendera z’ekibiina obululu mu byalo, basobole okudda n’obuwanguzi.
Ekibiina kino ng’omuyima waakyo ye mubaka wa Rushenyi, Mwesigwa Rukutana, kyawaddeyo Ppikipiki 2 ezibalirirwamu obukadde 8 n’essente enkalu obukadde 2, ziyambeko mu kaweefube w’okunoonya akalulu wansi mu byalo.
Lumumba era yazzeemu n’asaba abantu okumanya we bayimiridde ku nsonga y’ebyokwerinda, ebyobulamu, emirimu n’ebyenjigiriza, olwo basobole okukuuma ebiseera byabwe eby’omu maaso nga balonda NRM kubanga y’ebagaliza ebisinga.