Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago aganye obyokwessa mu kalantiini olw’ekirwadde kya coronavirus.
Ono era asabye woofiisi z’ekitongole kya KCCA okuggulwawo.
Minisita wa Kampala Betty Among ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde yalagira okukaggalwa kw’ekitebe kya KCCA oluvannyuma lw’abamu ku bakozi okukeberebwa nebasangibwamu ekirwadde kya coronavirus.
Abakozi abalala abasinga obungi baalagirwa basigale ewaka ng’emberera bwekyetegerezebwa.
Olukiiko lw’aba kansala olubadde lusuubirwa okubaawo leero terubaddeyo kubanga woofiisi ezisinga obungi olwaleero zibadde nzigale.
Zamini Masunge, kansala okuva e Kawempe ategeezezza nti kibadde tekisoboka kubeera nalutuula olwaleero kubanga woofiisi z’ekikugu zonna zibadde nzigale.
Kyokka Lukwago agamba minisita Amongi alina okufuna engeri butya woofiisi gyezisigala nga zigule mu ngeri yeeemu nga neekirwadde bwekyetangirwa.
Lukwago agamba nti tekisoboka kuggale woofiisi zakibuga zonna.
Agamba abantu abamu balina okusigala nga baweereza Bannakampala.
Doreen Nyanjura akulira akakiiko k’ebyensimbi agambye balina okutuula basobole okuyisa essente ezinaaweebwa olukiiko olukola ku COVID-19 mu Kampala.
Ono agamba nti akawumbi akamu kebaabawa baakamalawo dda nga n’olwekyo olukiiko luno lwetaaga essente endala.
Olive Namazzi, akulira akakiiko k’ebyobulamu agamba kano sikekaseera ka KCCA okuggaalawo woofiisi zaayo nga Bannakampala bali mu katuubagiro k’ekirwadde kya coronavirus.
Ono yeewunyizza oba n’obutale bunnaggalwa singa omuntu azuulwayo ng’alina ekirwadde kino.
URN