![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/Lukwago-joins-FDC.png)
Bya Musasi waffe
Najjanankumbi
Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, leero aggyeeyo empapula okuvuganye ku kifo ky’obwa looimeeya ku kaadi y’ekibiina ki Forum for Democratic Party (FDC).
Lukwago yasembeddwa omubaka wa Nakawa mu palanenti Micheal Andrew Kabaziguruka ne Mubaraka Munyagwa awamu ne Dr. Stella Nyanzi.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu FDC Toterebuka Bamwenda, yakkiriza nga bwafunye empapula za Lukwago era nalaga nti ono asembeddwa okwetaba mu kamyufu k’ekibiina.
Mukwogera kwe Lukwago, yeebazizza bakansala ba KCCA wamu n’abo abamusembye.
Lukwago yegatta ku FDC omwezi oguwedde nga 28/07/2020 oluvanyuma lw’okwabulirira ekibiina ki Democratic Party (DP).
Okusalawo kwa Lukwago kuggyeewo envuvumo nti bannakibiina ki FDC babadde bamuleeta okuvuganya ku bwapulezidenti oluvanyuma lwa Dr. Kizza Besigye okulaga nga bwatagenda kuddamu kwesimbawo.