Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti kyamubeeredde kizibu okulonda kabineeti naye bwe yagifulumizza buli omu yeewuunyizza.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okufulumya olukalala lwa kabineeti ng’alonze eyali minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo, okubeera omumyuka we, Robinah Nabbanja n’alondebwa okubeera Ssaabaminisita.
Abamu ku bantu naddala bannabyabufuzi baatandikiddewo okukolokota abaalondeddwa nga bagamba nti tebalina ky’amaanyi kye bagenda kutuusa ku ggwanga, ekintu Museveni ky’awakanya.
Bw’abadde ayogerako eri Palamenti ku Lwokuna oluvannyuma lw’okusoma embalirira, Museveni yeewaanye nga bwe yeewuunyisizza buli omu n’abantu be yalonze.
“ Bwe nabadde nnonda kabineeti nabadde nzekka. Kino kyevkimu ku bintu bye sseetaagako muyambi. Naye guno omulimu mulungi kuba bangi ku mmwe muli balungi era musobola okuweereza.” Museveni bw’ategeezezza.
“Bwe nabadde nkola kabineeti obwedda okula okugatta okwenjawulo ate ne ngabiza ate ne mbiddamu. Mbadde nnina okutunuulira eggwanga, eddiini n’ekitundu oli gy’ava.” Bw’atyo Museveni bw’agasseeko.
Museveni annyonnyodde nti abantu abalungi bangi era bonna bandiweereddwa omukisa kyokka n’agamba nti ne Yesu Kristo yalondamu bamu okumwegattako kuba buli omu yali tasobola kumuwa mukisa.
“Yesu bwe yali atandika obuweereza bwe, waaliwo abagezi ng’abafalisaayo naye yalondayo bavubi. Noolwekyo bwe mutunuulira kabineeti yange mukimanye nti nagoberedde kkubo lya Yesu Kristo.” Museveni bw’ategeezezza ababaka.
Oluvannyuma lw’okulangirira kabineeti eno, waliwo amaloboozi ageemulugunyizza nga bwe gataaweereddwa bifo nga kuno kwabaddeko Kasese.
Ku kino, Museveni akkiriza nti yabadde yamuteekamu eyali mmeeya wa munisipaali y’e Kasese, Godfrey Kabyanga naye erinnya lyamuvudde mu mutwe n’amwerabira ng’akola kabineeti.
Abamu ku batunuulizi b’ensonga bategeezezza nti kiyinza okubeera ekizibu eri Nabbanja nga Ssaabaminisita era akulira bbizineesi za gavumenti mu Palamenti okutambaala abasajja ba Opozisoni nga Mathias Mpuuga akulira oludda oluvuganya.
Bano Nabbanja abasabye okumuwa omukisa kuba abadde mu bifo bingi okuli obwaminisita, RDC, Kamisona wa Palamenti wamu n’omubaka nga yonna akung’aanyizzaayo obukugu obwenjawulo era ng’ebisaanyizo byonna abirina.