Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) nga bakuliddwa Pulezidenti waakyo, Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, baweze okulemesa enteekateeka za Pulezidenti Museveni ne bannakibiina kya National Resistance Movement (NRM) abaagala abantu abavunaanibwa emisango gy’obutemu n’emirala eminene okubeera nti tebeeyimirirwa.
Bino we bijjidde ng’ababaka babiri okuli Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya, bazzeemu okukwatibwa abeebyokwerinda oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti ku misango okugezaako okutemula abantu n’obutujju.
Kyagulanyi ku Mmande yavumiridde ekya gavumenti okulinnyirira eddembe ly’ababaka bano n’ategeeza nti gavumenti egezaako kunafuya ludda lugivuganya.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yakakasizza nga Ssegirinya bwe yakwatiddwa ng’agenda kuggulwako emisango emipya egy’okulya mu nsi olukwe.
Mu ngeri yeemu Kyagulanyi avumiridde engeri amateeka ga COVID-19 gye gateekebwa mu nkola n’ategeeza nti buli ekikolebwa gavumenti egendereramu kulaba bw’esobola kwenywereza mu buyinza nga bbizineesi z’abantu ba wansi ziggalwa ate ez’abanene mu gavumenti ne zirekebwa nga nzigule.
Bobi Wine era alaze okutya ku biseera by’ebyenjigiriza by’eggwanga eby’omu maaso kuba abaana bamaze ebbanga eriwera emyaka 2 nga batudde awaka, kyokka ne gavumenti by’eyogera ku nsonga eno tebimatiza era eraga nti tefaayo.