Bya Stephen Kulubasi
Njeru
Olwaleero mu mpaka z’ekikopo ky’amasaza eziyindira e Njeru, kyaddondo ekubye Kkooki ggoolo 2 ku 1 n’egiwandula mu kibinja Masengere. Amasaza gombi gayingidde ensiike nga buli limu linoonya buwanguzi bwalyo obusooka.

Ggoolo za Kyaddondo zombi ziteebeddwa Emayu Calvin Peter ne yeegatta ku bakyasinze okulengera akatimba mu mpaka z’omulundi guno ate ggoolo ya Kkooki eteebeddwa Ssekidde Anthony. Kkooki esigazzaayo omupiira gw’egenda okuttunkiramu ne Bugerere wabula nga tegulina kigenderwa kyonna ne bw’eguwangula.
Bugerere tewangulangako ku mpaka zino wabula nga y’ekulembedde ekibinja kino n’omuwendo gwa ggoolo. Bugerere ettunka ne Mawokota ku ssaawa mwenda ez’olweggulo lwalweero era awangula yeesogga “Kwota fayinolo” ne yeegatte ku Busujju ne Busiro abattunka ku bbalaza.









