• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kkooti y’ensi yonna esingisizza Dominic Ongwen emisango gy’entalo

Gambuuze by Gambuuze
February 4, 2021
in Amawulire
0 0
0
Kkooti y’ensi yonna esingisizza Dominic Ongwen emisango gy’entalo
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kkooti y’ensi yonna leero Lwokuna esingisizza eyali omuduumizi w’abayeekera ba Lord’s Resistance Army, emisango gya bakalintalo wamu n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu.

Dominic Ongwen mu kkooti

Ongwen ow’emyaka 45, asingisiddwa emisango 61 ku ejjo 70 egyamuvunaanibwa mu myaka gya 2000 nga ku gino kwaliko ogw’okukaka omuwala omukwano n’afuna olubuto.

Oludda oluwaabi lwasoose kulumiriza nti  Ongwen ku biragiro bya mukama we, Joseph Kony, yasanjaga abantu mu mawanga 4 ng’ayagala okukolawo eggwanga eryawamu eritambulira ku biragiro 104 ebya Bbayibuli.

“Omusango gumusinze era tewali kubuusabuusa bwonna.” Omulamuzi akuliddemu banne Bertram Schmitt  bw’agambye.

Ongwen, amanyiddwa nga “White Ant” asingisiddwa omusango gw’obutemu, okuwamba abakazi, okukuumira abakazi mu busibe n’okubakozesa mu bikolwa by’omukwano wamu n’okuyingiza abaana abato mu buyeekera.

Omulamuzi agaanye okukkiriza okwewozaako kwa Ongwen mw’ategeerezza nti naye yakosebwa kuba baamuwamba ne bamuyingiza mu buyeekera nga wa  myaka 9 era kino kyamukosa nnyo ng’omwana.

“Kkooti ekimanyi nti naawe wakosebwa nnyo naye emisango gino givunaanibwa Ongwen ng’omuduumizi w’eggye lya LRA.”  Omulamuzi Schmitt bw’agambye.

Ebya Ongwen okutegeeza kkooti nti yafuna ekizibu ku mutwe n’agwa eddalu, abigaanye nga tewali bujulizi bukakasa kino. Ebitongole ebirwanirizi by’eddembe okuli  Human Rights Watch  bisanyukidde ensala eno ne bitegeeza nti egguddewo essuula okuwa obwenkanya eri abo abatuusibwako ebikolobero.

Ekibiina ky’abayeekera ekya LRA kyatandikibwawo emyaka 30 emabega era kyatandikibwa eyeeyita Nnabbi  Joseph Kony mu mambuka ga Uganda n’ekigendererwa eky’okulwanyisa obukulembeze bwa Pulezidenti Yoweri Museveni.

Okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte, LRA yatta abantu abasoba mu mitwalo 10 ate n’ewamba abaana abawera emitwalo 6 mu mawanga okuli; Sudan, DR Congo ne Central African Republic.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist