• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Kkooti ya Kisekwa eramudde; Omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja mu Mpindi teguliiyo

Gambuuze by Gambuuze
November 13, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Kkooti ya Kisekwa eramudde; Omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja mu Mpindi teguliiyo
0
SHARES
369
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Kkooti ya Kisekwa (Eddiiro lya Katikkiro)esazeewo eggoye ku nkayana z’obuzaale bw’Omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja mu Kika Ky’Empindi negusingisa omuwaabi Patrick Kanyago eyakiikirirwa Ssekalega Mubuulire oluvannyuma lw’okukizuula nti omutuba gwayogerako teguliiyo.

Ensala eno, esomeddwa omuwandiisi w’Olukiiko luno, Omuk. Lubega Ssebende eri bannamawulire ku Lwokusatu mu Bulange e Mmengo.

Eddiiro lya Katikkiro ligamba nti obujulizi obuliwo bulaga nti omuwaabi n’omuwaawaabirwa bonna bava mu mutuba gumu ogwa Kyeswa e Kanyago – Bukunja mu Kyaggwe nga bwekityo ebya Kanaakonye tebiriiko bujulizi

Abalamuzi ba kkooti eno era bategeezezza nti balemwa okulaba abakulu b’enyiriri oba ab’empya mu maka ga  Ssekalega Mubuulire ewagambibwa okusibuka Omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja wabula abantu abaaliyo beebo abawangaalira mu maka ago.

Bano era bakizudde nti agambibwa okubeera ow’Omutuba Kanaakonye Muzabajja era omuwaabi w’omusango Patrick Kanyago emirundi emitono gyeyalabikako gyeri yalemererwa okugisaba akadde aleete obujulizi bwe obukakasa obutuufu bw’Omutuba guno.

Olukiiko lwa Kkooti ya Kisekwa bwelwagenda ku kyalo Bukobera Ggunda  mu Kyaggwe awagambibwa okubeera obutaka bw’omutuba gwa Kanaakonye Muzabajja, omuwaabi Patrick Kanyago yalemererwa okulabikako.

Era kkooti ekizudde  nti Ssekalega Mubuulire bwebaali tebanamuggya ku bukulu yatambulanga bulungi ne banne naye bwebamuggyaako obuwandiisi yanyiiga nakyusa mu nneeyisa.

Kkooti ekakasa nti obutaka obugambibwa okubeera obutaka bw’omutuba bwa Kanaakonye Muzabajja weewali amaka ga Ssekalega Mubuulire eyali akiikirira Patrick Kanyago. Eno balemwa okuzuulayo embuga y’omutuba wadde abazzukulu.

Kkooti egamba nti mu buwangwa essiga lyelizaala omutuba, nga Ow’essiga Kamyuka Mugalu avaamu omuwaabi n’omuwawaabirwa yakakasizza ddala eddiiro nga mu baana be bwatalinamu Kanaakonye Muzabajja era nakakasa nti abazzukulu bano bombi bava mu mutuba gwa Kyeswa.

Abalamuzi bwebatyo balagidde oyo yenna atamatidde nansala ya kkooti eno okujjulira ewa Ssaabasajja Kabaka mu bbanga lya nnaku asatu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist