Bya Musasi Waffe
Kampala
Kkooti ya Law Development Centre mu Kampala eyise akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu ku bigambibwa nti yeegatta ku Ssettendekero wa Makerere mu bukyamu.
Munnamateeka Male Mabirizi ye yatutte Kyagulanyi mu mbuga ng’agamba nti kyali kikyamu okuweebwa dipulooma mu Nnyimba ne Katemba ( Music, Dance and Drama-MDD) kuba yalina emyaka 20 gyokka ate yali taweza bisaanyizo bimukkiriza kwegatta ku Ssettendekero ono.
Okusinziira ku Mabirizi, Kyagulanyi yayingira e Makerere nga wa myaka 20 ng’ennaku z’omwezi October 21, 2000, era n’awandiisibwa ng’omuyizi wa MDD nga yakozesa nteekateeka y’abantu abakulu okwegatta ku Ssettendekero ono naye okusinziira ku budde obwo omuyizi eyali akkirizibwa mu nteekateeka eno, waakiri yalina okuba ng’aweza emyaka 25 oba ng’ebbanga ly’amaze ng’avudde mu ssomero terisukka myaka etaano.
Ku Lwokubiri omulamuzi yayise Kyagulanyi ajje yeewozeeko ku nsonga zino. “Oyitibwa okwewozaako ku by’okuyingira mu Ssettendekero wa Makerere mu bukyamu ekikontana n’akawaayiro nnamba 312 aka Penal Code Act. Noolwekyo oyitibwa okulabikako mu kkooti nga October ,7,2021 ku ssaawa 12:00 ez’omu ttuntu, omusango guno gusobole okuwulirwa.” Ekiwandiiko ekimuyita bwe kisomye.
Ekiwandiiko kino kyafulumiziddwa oluvannyuma lwa Male Mabirizi okusaba kkooti emuyite yeenyonnyoleko ku by’okwegatta ku Ssettendekero ono mu bukyamu.
Mabirizi era aleese ebiwandiiko ebikakasiddwa Ssettendekero ono kwe baaweera Kyagulanyi ekifo nga biraga nti ono yayingirira ku nteekateeka y’abantu abakulu mu 2000 naye yali tannaweza myaka 25 nga bwe kyali kiragirwa.
Akawaayiro nnamba 312 ak’etteeka lya ‘Penal Code’ kagamba nti omuntu yenna agezaako okwewandiisa oba eyeewandiisa mu ngeri yonna okufuna layisinsi oba ssatifikeeti mu bukyamu, abeera azizza omusango era asibwa omwaka mulamba singa kikakasibwa nti omusango yaguzza.