Kkooti enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro ekiyimirizza ekitongole ekikola ku kulabirira obutonde bwensi ekya National Environmental Management Authority-Nema okusengula abantu 304 okuva e Kansanga Kiwafu B zzooni ne Heritage zzooni mu ggombolola y’e Makindye mu disitulikiti y’e Kampala.
Omulamuzi wa kkooti ekola ku nkaayana z’ettaka Yasin Nyanzi yagambye ekiragiro kino kigenda kukola okutuusa ng’emaze okuwulira omusango abatuuze bano gwe baawawaabira Nema nga bawakanya okugobwa kwabwe.
Ekiragiro ekyasooka kyayisibwa ssabbiiti ewedde omuwandiisi wa kkooti eno oluvannyuma lw’abatuuze okugitegeeza nti singa teyimiriza bagenda kubonaabona nnyo.
Ekiragiro kino kibadde kiggwako leero kubanga omusango gwabwe gubadde gugenda kuwulirwa olwaleero omulamuzi Nyanzi.
Omusango tegwasobose kuwulirwa olwaleero oluvannyuma lw’omulamuzi okusaba abawaabi okufuna ababakiikirira okusobola okukendeeza ku muwendo.
Munnamateeka waabwe, Achilies Lubega, yategeezezza nti kino kyakoleddwa okusobola obutamalira kkooti budde.
Nga June 8, Nema yawa abatuuze bano ennaku 21 okumenya amayumba gaabwe oba seekyo, ebajjewo lwampaka.
Bano baategeezezza nti babadde ku ttaka lino okumala emyaka egisukka mwa 30 nga netteeka erissaawo Nema terinnabagibwa.
Jeff Gidaguyi, omu kubaakulembeddemu bannabwe, yategeezezza nti yagula ettaka lino okuva ku Bosco Ibanda mu 2010
Ono yategeezezza nti kikyamu okubagoba ku ttaka lino kubanga baamala dda okuzimbako amayumba mwebasula, amasomero, wamu n’ebifo ebisinzizibwamu.
Ssentebe w’ekyalo kino Yiga Gonzaga agamba babadde mu ddembe okutuusa aba Nema lwebazze okubataataaganya.
Ono yagambye ettaka sirya Nema nga nebwekityo, singa gavumenti eyagala okulikozesa erina okubasasula.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalagira Nema egobe abantu bonna abeesenzezza mu ntobazi wamu n’embalama z’ennyanja n’emigga.
Kino kyaddirira okweyongera kw’amazzi mu nnyanja naddala Nalubaale ekiviiriddeko amataba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
URN