Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti etaputa Ssemateeka mu ggwanga, egaanye kkooti y’amagye okuddamu okuwozesa omuntu yenna atali munnamagye.
Okusinziira ku nsala ya kkooti eno ey’Olwokuna, abalamuzi basatu aba kkooti eno okuli; Kenneth Kakuru, Hellen Obura ne Remmy Kasule, baagambye nti kkooti y’amagye erina kuwozesa bajaasi bokka kuba be bafugibwa etteeka lya UPDF ‘Act’.
Abalamuzi babiri bayawukanye okuli Christopher Madrama ne Stephen Musota ne balaga nga kkooti y’amagye bw’esobola okuwozesa abantu ba bulijjo abasangibwa n’ebintu by’amagye.
Kkooti etaputa Ssemateeka era yalagidde abasibe bonna ababadde bawozesebwa mu kkooti y’amagye batwalibwe mu kkooti ezaabulijjo era n’eragira Ssaabawaabi wa gavumenti okutwala obuvunaanyizibwa buno mu nnaku 14 zokka okuva eggulo, ensala eno lwe yafulumye.
Abalamuzi era baalambise nti abo bonna abalina emisango mu kkooti eno nabo abali mu makomera okukuumirwa mu bifo ebikkirizibwa mu mateeka nga bwe balinda emisango gyabwe okusindikibwa mu kkooti zaabulijjo.
Ensala ya kkooti eno kizzeewo oluvannyuma lw’eyali omubaka wa Nakawa Divisoni, Michael Kabaziguruka, okuddukira mu kkooti eno ng’awakanya okumuwozeseza mu kkooti y’amagye ate nga siwa magye.
Mu 2016, Kabaziguruka wamu n’abajaasi ba UPDF abawera 20 baasimbibwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okwagala okuvuunika gavumenti ya Museveni nga bakozesa emmundu.
Kabaziguruka bwe yasimbibwa mu kkooti eno, yagaana okubaako ky’anyega n’alemera ku kimu nti kkooti eno terina buyinza kumuwozesa kuba si mujaasi.
Ku Lwokuna, kkooti etaputa Ssemateeka, yategeezezza nti kyali kikyamu kkooti y’amagye okuwozesa Kabaziguruka nga si mujaasi.