Kkooti enkulu mu Kampala esazizzaamu okulonda kwekimu ku biwayi bya DP.
Bano baasisinkana nga March 13, 2020 nebajjuza ebifo bya ssentebe w’ekibiina, omuwandiisi, akulira abakyala, wamu n’omuwanika.
Okulonda kuno kwaddirira ensalawo ya kkooti eyali ekulira omulamuzi Andrew Bashaija mu musango ogwawawaabirwa munnakibiina Rajab Ssenkubuge eyagamba kyali kimenya mateeka okuba n’ebifo ebitalimmu bantu.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika yalondebwa ku bwa ssentebe, Medard Lubega Sseggona, omubaka akiikirira obujanjuba bw’essaza lye Busiro naalondebwa okuba omuwandiisi, omubaka wa disituliti y’e Masaka Mary Babirye Kabanda naalondebwa ku buwanika, Patrick Katuramu naalondebwa okumyuka omuwanika, Racheal Kagoya ng’amyuka akulira abakyala ate Alex Kiwanuka naalondebwa ng’akiikirira DP e Busoga.
Nga wayise ennaku ntono akulira DP, Norbert Mao yawawaabira Ssenkubuge n’abekiwayikye nga ayagala kkooti esazeemu ebiragiro by’omulamuzi Bashaija.
Olwaleero omulamuzi Musa Ssekaana agambye nti Ssenkubuga ekiragiro kya kkooti yakifuna mu bukyamu kubanga Democratic party Uganda gyeyawawaabira siyeeyo emanyiddwa mu mateeka. Emanyiddwa bagiyita The Democratic Party.
Ono era agambye nti bano tebaddamu kutegeka kulonda kwebatalinaako buyinza kubanga kino kijja kuleeta emivuyo mu kibiina.
URN